Noovemba 27–Ddesemba 3
NAKKUMU 1–KAABAKUUKU 3
Oluyimba 129 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Sigala ng’Otunula mu by’Omwoyo era ng’Oli Munyiikivu”: (Ddak. 10)
[Mulabe vidiyo, Ennyanjula y’Ekitabo kya Nakkumu.]
[Mulabe vidiyo, Ennyanjula y’Ekitabo kya Kaabakuuku.]
Kab 2:1-4—Okusobola okuwonawo ku lunaku lwa Yakuwa, tusaanidde okusigala nga tutunula mu by’omwoyo era nga ‘tululindirira’ (w07 12/1 10 ¶3-5)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Nak 1:8; 2:6—Nineeve kyasaanyizibwawo kitya? (w07 12/1 9 ¶2)
Kab 3:17-19—Wadde nga tuyinza okutuukibwako ebizibu eby’amaanyi ng’olutalo Amagedoni lunaatera okutandika oba nga lugenda mu maaso, tuli bakakafu ku ki? (w07 12/1 10 ¶10)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Kab 2:15–3:6
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) hf—Lekawo kye munaayogerako ng’ozzeeyo.
Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) hf—Laga ng’ozzeeyo eri omuntu gwe walekera brocuwa Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu.
Okwogera: (Ddak. 6 oba obutawera) w16.03 lup. 23-25—Omutwe: Osobola Okuyamba Ekibiina Kyo?
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Sigala ng’Otunula mu by’Omwoyo nga Wazzeewo Enkyukakyuka”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo erina omutwe, Okusigala ng’Oli Munywevu mu by’Omwoyo ng’Osenguka.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jl Essomo 20, 21, 22
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3) Tegeeza ekibiina nti mu mwezi gwa Ddesemba tujja kugaba magazini ya Zuukuka! erina omutwe, “Ensi Eno Egenda Kusaanawo?” Vidiyo ey’ennyanjula gye tujja okukubaganyaako ebirowoozo ku lukuŋŋaana oluddako olwa wakati mu wiiki ejja kubaako ku JW Library okuva nga Noovemba 30. Ababuulizi basaanidde okufuba okugaba magazini eyo.
Oluyimba 123 n’Okusaba