Jjulaayi 3-9
EZEEKYERI 11-14
Oluyimba 52 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Olina Omutima Omugonvu?”: (Ddak. 10)
Ezk 11:17, 18—Yakuwa yasuubiza okuzzaawo okusinza okw’amazima (w07 7/1 11 ¶4)
Ezk 11:19—Yakuwa asobola okutuwa omutima omugonvu ogutusobozesa okukolera ku bulagirizi bw’atuwa (w16.05 15 ¶9)
Ezk 11:20—Yakuwa ayagala tusse mu nkola ebyo bye tuyiga
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Ezk 12:26-28—Okusinziira ku nnyiriri zino, buvunaanyizibwa ki bwe tulina? (w07 7/1 13 ¶8)
Ezk 14:13, 14—Tuyigira ki ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku bantu aboogerwako mu nnyiriri zino? (w16.05 26 ¶13; w07 7/1 13 ¶9)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Ezk 12:1-10
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo eziraga ennyanjula ze tuyinza okukozesa era oluvannyuma lwa buli vidiyo, mukubaganye ebirowoozo.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebyetaago gy’Ekibiina: (Ddak. 15) Oba oyinza okwogera ku by’okuyiga ebiri mu katabo Yearbook. (yb17-E 41-43)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv sul. 13 ¶16-26, akas. ku lup. 156
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 34 n’Okusaba