EKIGABO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YEREMIYA 39-43
Yakuwa Ajja Kusasula Buli Muntu Okusinziira ku Bikolwa Bye
Zeddeekiya yajeemera Yakuwa n’agaana okwewaayo eri kabaka wa Babulooni
Abaana ba Zeddeekiya battibwa ng’alaba. Baamuggyamu amaaso ne bamusiba empingu ez’ekikomo ne bamutwala e Babulooni ne bamusiba mu kkomera okutuusa lwe yafa
Ebedumereki yakiraga nti yali yeesiga Yakuwa era yayamba nnabbi Yeremiya
Yakuwa yasuubiza okuwonyaawo Ebedumereki nga Yerusaalemi kizikirizibwa
Yeremiya yabuulira n’obuvumu okumala emyaka mingi nga Yerusaalemi tekinnazikirizibwa
Ekibuga Yerusaalemi bwe kyali kizingiziddwa, Yakuwa yakuuma Yeremiya n’atatuukibwako kabi era yalagira Abababulooni okuta Yeremiya