Maayi 1-7
YEREMIYA 32-34
Oluyimba 138 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Akabonero Akaalaga nti Abayisirayiri Bandizzeeyo mu Nsi Yaabwe”: (Ddak. 10)
Yer 32:6-9, 15—Yakuwa yagamba Yeremiya okugula ekibanja ng’akabonero akandiraze nti Abayisirayiri bandizzeeyo mu nsi yaabwe (it-1-E 105 ¶2)
Yer 32:10-12—Yeremiya yakola byonna ebyetaagisa mu mateeka ng’agula ekibanja ekyo (w07 4/1 11 ¶3)
Yer 33:7, 8—Abo abaali mu buwaŋŋanguse Yakuwa yabasuubiza ‘okubanaazaako ebibi byabwe’ (jr-E 152 ¶22-23)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Yer 33:15—“Omusika” wa Dawudi y’ani? (jr-E 173 ¶10)
Yer 33:23, 24—“Ennyumba ebbiri” ezoogerwako wano ze ziruwa? (w07 4/1 11 ¶4)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Yer 32:1-12
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo eziraga ennyanjula ze tuyinza okukozesa era oluvannyuma lwa buli vidiyo, mukubaganye ebirowoozo. Kubiriza bonna okukozesa vidiyo eyanjula brocuwa, Amaka Gammwe Gasobola Okubaamu Essanyu.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 15) Oba oyinza okwogera ku by’okuyiga ebiri mu katabo Yearbook. (yb16-E 67-71)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv sul. 11 ¶1-9
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 87 n’Okusaba