EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ISAAYA 43-46
Byonna Yakuwa by’Ayogera Bituukirira
Mu Kyapa
Ng’ebulayo emyaka nga 200 Babulooni kiwambibwe, Yakuwa yakozesa nnabbi Isaaya okuwandiika obunnabbi obwalaga ebyandibaddewo.
Kuulo ye yandiwambye Babulooni
Enzigi zaakyo zandisangiddwa nga nzigule
Omugga Fulaati ogwali gukyetoolodde ‘gwandikalidde’