EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 45-51
Omutima Oguboneredde Yakuwa Tagugaya
Dawudi yawandiika Zabbuli 51 oluvannyuma lwa nnabbi Nasani okumutegeeza ekibi kye yali akoze eky’okwenda ku Basuseba. Omuntu ow’omunda owa Dawudi yamulumiriza era n’ayatula ekibi kye.—2Sa 12:1-14.
Dawudi yali akoze ekibi naye yali akyasobola okuzzaawo enkolagana ye ne Katonda
Bwe yali tannaba kwenenya n’okwatula ekibi kye, omuntu we ow’omunda yamulumiriza nnyo
Yawulira bubi nnyo olw’okukimanya nti yali takyasiimibwa mu maaso ga Katonda era yawulira ng’omuntu eyali amenyesemenyese amagumba
Yali ayagala okusonyiyibwa, okuddamu okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda, era n’okuddamu okuba omusanyufu
Yeegayirira Yakuwa amuyambe okuba omuwulize
Yali mukakafu nti Yakuwa yandimusonyiye