LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb16 Jjuuni lup. 3
  • Weesige Yakuwa Okolenga Ebirungi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Weesige Yakuwa Okolenga Ebirungi
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Laba Ebirala
  • ‘Sanyukiranga Yakuwa’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Ng’Enkomerero bw’Esembera, Weesige Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Obwesige Bwetaagisa Okusobola Okuba n’Obulamu obw’Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Osobola Okwesiga Bakkiriza Banno
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Jjuuni lup. 3

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 34-37

Weesige Yakuwa Okolenga Ebirungi

‘Tokwatirwa Boonoonyi Ensaalwa’

37:1, 2

  • Ababi ne bwe balabika ng’abali obulungi, ekyo tokikkiriza kukulemesa kuweereza Yakuwa. Ebirowoozo byo bimalire ku mikisa Yakuwa gy’akuwadde ne ku biruubirirwa byo eby’omwoyo

“Weesigenga Yakuwa era kolanga ebirungi”

37:3

  • Bw’oba olina ekikweraliikiriza oba ng’obuusabuusa, weesige Yakuwa. Ajja kukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa

  • Beera munyiikivu mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka

“Yakuwa abeerenga ensibuko y’essanyu lyo”

37:4

  • Beera n’enteekateeka ey’okusoma Bayibuli n’okugifumiitirizaako osobole okweyongera okutegeera Yakuwa

“Amakubo go gakwasenga Yakuwa”

37:5, 6

  • Weesige Yakuwa nti ajja kukuyamba okwaŋŋanga ekizibu kyonna

  • Sigala ng’olina empisa ennungi ng’oziyizibwa, ng’oyigganyizibwa, oba ng’oyogerwako eby’obulimba

“Sirika mu maaso ga Yakuwa era mulindirire n’obugumiikiriza”

37:7-9

  • Weewale okwanguyiriza okukola ebintu ebiyinza okukumalako essanyu n’okukuggyako obukuumi bwa Yakuwa

“Abawombeefu balisikira ensi”

37:10, 11

  • Beera muwombeefu era lindirira Yakuwa okuggyawo obutali bwenkanya bwonna

  • Yamba bakkiriza banno, era budaabuda abennyamivu ng’obabuulira ku kisuubizo kya Katonda eky’ensi empya enaatera okutuuka

Malayika ng’alaga ensi empya

Obwakabaka bwa Masiya bujja kuleeta emikisa egy’olubeerera

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza