EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 1-10
Okuba mu Mirembe ne Yakuwa, Kyetaagisa Okussa Ekitiibwa mu Mwana We Yesu
Obukyayi eri Yakuwa ne Yesu bwalagulwa
Kyalagulwa nti amawanga tegandikkirizza buyinza bwa Yesu wabula gandiremedde ku buyinza bwago
Obunnabbi obwo bwatuukirira mu kiseera nga Yesu ali ku nsi era butuukirira ku kigero ekisingawo leero
Omuwandiisi wa Zabbuli agamba nti amawanga galowooza ekintu ekitaliimu, ekitegeeza nti ekigendererwa kyago tekiriimu nsa era nti tegajja kutuuka ku buwanguzi
Abo bokka abassa ekitiibwa mu Kabaka Yakuwa gwe yafukako amafuta be bajja okufuna obulamu
Abo bonna abaziyiza Kabaka Yesu bajja kuzikirizibwa
Abantu bwe bassa ekitiibwa mu Yesu Omwana wa Katonda bajja kufuna emirembe n’obutebenkevu