EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 EBYOMUMIREMBE 29-32|
Okusinza okw’Amazima Kwetaagisa Okufuba
Mu Kyapa
Keezeekiya amalirira okuzzaawo okusinza okw’amazima
746-716 E.E.T.
Obufuzi bwa Keezeekiya
NISAANI 746 E.E.T.
Olunaku 1-8: Baayonja oluggya olw’omunda
Olunaku 9-16: Baayonja ennyumba ya Yakuwa
Okutangirira ebibi by’Abayisirayiri n’okuzzaawo okusinza okw’amazima
740 E.E.T.
Samaliya kizikirizibwa
Keezeekiya ayita abantu bonna okukuŋŋaana basinze Yakuwa
Ababaka abaalina amabaluwa baasindikibwa okulangirira Embaga ey’Okuyitako mu Isirayiri yonna, okuva e Beeru-seba okutuuka e Ddaani
Wadde ng’abamu baagana okujja, bangi bajja