LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 10/14 lup. 2
  • Okunnyonnyola Obunnabbi Obukwata ku Mwaka 1914

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okunnyonnyola Obunnabbi Obukwata ku Mwaka 1914
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Laba Ebirala
  • Ekitundu Ekisobola Okutuyamba mu Buweereza
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Obwakabaka bwa Katonda Bwatandika Ddi Okufuga? (Ekitundu 2)
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Obwakabaka bwa Katonda Bwatandika Ddi Okufuga? (Ekitundu 1)
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • ‘Mungobererenga’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
km 10/14 lup. 2

Okunnyonnyola Obunnabbi Obukwata ku Mwaka 1914

Ebyawandiikibwa bitukubiriza ‘okuba abeetegefu okuddamu’ abo abatubuuza ebikwata ku nzikiriza zaffe, ‘nga tukikola n’obukkakkamu era nga tubassaamu ekitiibwa.’ (1 Peet. 3:15) Naye oluusi kiyinza obutatwanguyira kunnyonnyola mazima ag’omunda agali mu Bayibuli, gamba ng’obunnabbi obukwata ku mwaka 1914 Obwakabaka lwe bwatandika okufuga. Ebitundu ebibiri ebirina omutwe ogugamba nti, “Okukubaganya Ebirowoozo​—Obwakabaka bwa Katonda Bwatandika Ddi Okufuga?” ebiri mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba n’ogwa Noovemba 2014 bisobola okutuyamba okunnyonnyola obunnabbi obwo. Ng’osoma ebitundu ebyo, weetegereze engeri omubuulizi ayitibwa Cameron gye yayambamu omuyizi we, era oluvannyuma oddemu ebibuuzo bino:

Cameron . . .

  • yasiima atya omuyizi we n’asobola okweyongera okukubaganya naye ebirowoozo?​—Bik. 17:22.

  • yayoleka atya obuwombeefu ng’annyonnyola omuyizi we?​—Bik. 14:15.

Lwaki . . .

  • Cameron yawumbawumbangako ebyo bye baabanga boogeddeko nga tannagenda ku nsonga ndala?

  • buli luvannyuma lwa kiseera Cameron yamubuuzanga obanga yali ategedde ebyo bye baabanga boogeddeko?

  • Cameron teyamunnyonnyola obunnabbi bwonna omulundi gumu?​—Yok. 16:12.

Tuli basanyufu nnyo olw’okuba Yakuwa, ‘Omuyigiriza waffe Omukulu,’ atuyigiriza okunnyonnyola abantu ab’emitima emirungi, amazima ag’omunda agali mu Bayibuli.​—Is. 30:20, NW.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza