Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Tulakiti, Wa We Tusobola Okufuna eby’Okuddamu mu Bibuuzo Ebikulu Ennyo mu Bulamu?
Oyo gw’osanze awaka muwe tulakiti eyo alabe omutwe gwayo oluvannyuma omugambe nti: “Tuli mu kaweefube akolebwa mu nsi yonna ow’okutuusa obubaka buno ku buli muntu, era buno bwe bubwo.”
Bw’oba wa kuleka tulakiti eyo awaka w’otasanze bantu, giteeke mu kifo abayitawo we batasobola kugirabira era togifunyaafunya.
Omuntu bw’aba ayagala okumanya ebisingawo oba ng’ayagala mukubaganye ebirowoozo, mulage ekibuuzo ekiri kungulu ku tulakiti awamu n’eby’okuddamu era omusabe akuwe endowooza ye. Bikkula tulakiti omulage ekyo Zabbuli 119:144, 160 kye wagamba. Munnyonnyole nti tulakiti eyo eraga omukutu gwa Intaneeti oguyinza okumuyamba okufuna eby’okuddamu ebiri mu Bayibuli. Bw’oba osobola, mulage vidiyo eri ku mukutu gwaffe erina omutwe ogugamba nti “Why Study the Bible?” (Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?) Nga tonnagenda, mulage ebibuuzo ebisatu ebiri emabega ku tulakiti eyo era omubuuze kye yandyagadde kiddibwemu. Mugambe nti wandyagadde okudda omulage engeri gy’ayinza okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo ng’akozesa omukutu jw.org. Bw’oddayo, genda ku BIBLE TEACHINGS > BIBLE QUESTIONS ANSWERED omulage eky’okuddamu.
Bwe muba nga mu kiseera kye kimu mugaba obupapula obuyita abantu ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu, muwe n’akapapula ako omugambe nti, “Ate era tukuyita ne lukuŋŋaana olunene, okuyingira kujja kuba kwa bwereere.”
Omunaala gw’Omukuumi Agusito 1
Ku wiikendi bwe kiba kituukirawo, oyinza okwogera bino okusobola okugaba Omunaala gw’Omukuumi: “Twandyagadde n’okukuwa akatabo kano akaddamu ekibuuzo ekigamba nti, Katonda akufaako?”
Awake! Agusito
Ku wiikendi bwe kiba kituukirawo, oyinza okwogera bino okusobola okugaba Awake! “Twandyagadde n’okukuwa obutabo buno. Awake! eddamu ekibuuzo ekigamba nti, Biki ebisobola okuyamba abantu okutabagana?”