Omwezi gwa Agusito Gujja Kuba gwa Byafaayo!
Tulakiti Empya Ya Kugabibwa mu Nsi Yonna
1. Ng’emyaka 100 ginaatera okuwera ng’Obwakabaka bufuga, kaweefube ki ow’enjawulo ajja okukolebwa mu nsi yonna?
1 Emyaka 100 ginaatera okuwera bukya Obwakabaka bwa Katonda butandika okufuga mu ggulu. Mu mwezi gwa Agusito, tujja kutendereza Yakuwa nga twenyigira mu kaweefube ow’enjawulo ajja okukolebwa mu nsi yonna. Tujja kugaba tulakiti empya erina omutwe ogugamba nti: Wa We Tusobola Okufuna eby’Okuddamu mu Bibuuzo Ebikulu Ennyo mu Bulamu? Tulakiti eno ekubiriza abantu okunoonya eby’okuddamu mu Bayibuli era ennyonnyola engeri omukutu gwaffe jw.org gye guyinza okubayambamu.
2. Tunaatendereza tutya Yakuwa ‘n’eddoboozi eddene’ mu Agusito?
2 Tumutendereze n’Eddoboozi Eddene: Ababuulizi ababatize bajja kufuna enkizo ey’okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu mwezi gwa Agusito nga bawaayo essaawa 30, kibasobozese okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube oyo. Okuva bwe kiri nti omwezi gwa Agusito gulimu wiikendi ttaano, ababuulizi abakozi n’abasomi bajja kuba basobola okuweereza nga bapayoniya abawagizi. Bw’oba olina omuyizi atuukiriza ebisaanyizo by’okufuuka omubuulizi oba omwana eyandyagadde okutandika okubuulira, tegeeza ow’oluganda akwanaganya akakiiko k’abakadde amangu ddala. Nga kijja kuba kya ssanyu nnyo ababuulizi abapya okutwegattako mu kaweefube ono ow’enjawulo! Wadde nga bapayoniya aba bulijjo bangi batera okuwummulamu mu mwezi gwa Agusito nga bamazeeyo essaawa zaabwe eza buli mwaka, kijja kuba kirungi singa bakyusaamu mu nteekateeka zaabwe basobole okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube oyo ow’enjawulo. Kino kye kiseera ab’omu maka okukubaganya ebirowoozo ku ngeri gye banaatenderezaamu Yakuwa ‘n’eddoboozi eddene’ mu mwezi gwa Agusito.—Ezer. 3:11; Nge. 15:22.
3. Kiki ekisuubirwa mu kaweefube ono ow’enjawulo?
3 Wadde nga tuzze twenyigira mu kaweefube ow’enjawulo, tusuubira nti ono ajja kuba wa byafaayo. Ate era tusuubira nti mu mwezi gwa Agusito tujja kutuuka ku ntikko empya ey’ababuulizi, ey’essaawa ze tumala nga tubuulira, n’eya bapayoniya abawagizi. Nga tukomekkereza omwaka g’obuweereza ogwa 2014, tusaba Yakuwa atuwe emikisa omwezi gwa Agusito gusobole okuba omwezi ogukyasinze okuweerwamu obujulirwa mu byafaayo!—Mat. 24:14.