Ebirango
◼ Eby’okugaba mu Maayi ne Jjuuni: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? oba emu ku tulakiti zino wammanga: Bayibuli Ogitwala Otya?, Ddala Abafu Basobola Okuddamu Okuba Abalamu?, Ddala Ani Afuga Ensi?, Kiki Ekisobozesa Amaka Okubaamu Essanyu?, Okubonaabona Kuliggwaawo?, Olowooza Ki ku Biseera eby’Omu Maaso?, oba Wandyagadde Okumanya Amazima? era mufube okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Jjulaayi: Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! oba emu ku brocuwa zino wammanga: Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!, Wuliriza Katonda, oba Wuliriza Katonda obe Mulamu Emirembe Gyonna. Agusito: Tujja kugaba tulakiti empya ekwata ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti jw.org. Bwe kiba nga tekituukirawo kugaba tulakiti eyo mu kitundu kye mubuuliramu, mugabe brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! oba emu ku brocuwa zino wammanga: Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!, Wuliriza Katonda, oba Wuliriza Katonda obe Mulamu Emirembe Gyonna.