Engeri y’Okutegekamu Ennyanjula Ennungi
1. Lwaki kikulu okukozesa ennyanjula ennungi?
1 Ng’akawoowo k’emmere bwe kaleetera omuntu okwesunga emmere eyo, ennyanjula ennungi ereetera omuntu okwagala okukuwuliriza. Okuva bwe kiri nti emmere okusobola okuba empoomu kyetaagisa okugiteekateeka obulungi, n’ennyanjula bw’eba ey’okuba ennungi kyetaagisa okugitegeka nga bukyali. (Nge. 15:28) Tuyinza tutya okutegeka ennyanjula ennungi?
2. Tuyinza tutya okutegeka ennyanjula ennungi?
2 Londa Ensonga Ezinaabasikiriza: Ennyanjula zaffe bwe ziba tezisikiriza, abantu bayinza obutatuwuliriza. N’olwekyo bw’oba otegeka ennyanjula, lowooza ku nsonga ezikwata ku bantu b’omu kitundu kyammwe. Abantu baagala gavumenti ennungi, baagala kufuna ssanyu mu maka, oba baagala entalo zikome? Abantu bangi baagala nnyo okuwa endowooza zaabwe, n’olwekyo tegeka ekibuuzo ekinaayamba omuntu okufumiitiriza n’okuwa endowooza ye. Oyinza okulonda emu ku nnyanjula eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka n’ogituukaganya n’abantu b’omu kitundu kyammwe. Ate era muyinza okwegezaamu ezimu ku nnyanjula mu Kusinza kw’Amaka?
3. Tuyinza tutya okutuukaganya ennyanjula zaffe n’empisa z’abantu b’omu kitundu kyaffe, era n’enzikiriza zaabwe?
3 Lowooza ku Mpisa z’Omu Kitundu ne ku Nzikiriza Zaabwe: Mu bitundu ebimu bw’ogenda mu maka g’omuntu bakusuubira okutuukira ku nsonga. Ate mu bitundu ebirala, teziba mpisa nnungi omugenyi bw’atuukira ku nsonga n’atasooka kulamusa b’asanze awaka, oboolyawo n’okubabuulirako ebimukwatako. Mu bitundu ebimu, abantu bakkiririza mu Bayibuli era kitwanguyira okugikozesa ku mulundi gwe tuba tusoose okubakyalira. (Bik. 2:14-17) Kyokka mu bitundu omuli abantu abatali ba madiini ag’Ekikristaayo, oba abatalina ddiini, kiba kirungi okwogera ku Bayibuli ng’ozzeeyo okubakyalira mu kifo ky’okukikola ku mulundi ogusooka.—Bik. 17:22-31.
4. Biki bye tusaanidde okulowoozaako nga tuteekateeka ebigambo bye tunaakozesa nga tutandika okwogera n’omuntu?
4 Ebigambo by’Onoosooka Okwogera: Teekateeka bulungi ebigambo by’onookozesa ng’otandika okwogera n’omuntu. Lowooza ku bigambo ebitonotono era ebyangu okutegeera. Engeri gye twogeramu nga tutandika okwogera n’omuntu nayo nkulu. Yogera n’ebbugumu. Yoleka omukwano era ssaako akamwenyumwenyu. Bw’okola bw’otyo kiraga nti gw’oyogera naye omufaako. Bwe tunaakolera ku magezi ago, kijja kutuyamba okuteekateeka ennyanjula ezijja okusikiriza abantu b’omu kitundu kye tubuuliramu okulya ku “mmeeza ya Yakuwa.”—1 Kol. 10:21.