Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Ddesemba
“Abantu bangi beesunga olunaku Yesu lw’alidda. Yesu bw’alidda kiki kye wandyagadde akole?” Muleke abeeko ky’addamu. Mulage ekitundu ekiri ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ddesemba 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo ekisooka, era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
Omunaala gw’Omukuumi Ddesemba 1
“Abantu bangi leero balina eby’okukola bingi ne kiba nti babulwa obudde okuyiga ebikwata ku Katonda. Olowooza kikulu okuyiga ebikwata ku Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Lumu Yesu bwe yali ayigiriza, yalaga nti abantu beetaaga obulagirizi bwa Katonda okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala. [Soma Matayo 5:3.] Akatabo kano kalaga ensonga ssatu lwaki kikulu okuyiga ebikwata ku Katonda.”
Awake! Ddesemba
“Abantu bangi balowooza nti buli ekifulumira ku mikutu gy’empuliziganya kiba kituufu. Ggwe olowooza byonna biba bituufu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli eraga nti tetusaanidde kumala gakkiriza buli kye tuba tuwulidde. [Soma Yobu 12:11.] Akatabo kano kalimu amagezi agasobola okutuyamba okumanya obanga ebyo bye tuba tuwulidde oba bye tuba tusomye bituufu.”