Okwejjukanya
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Jjuuni 24, 2013. Ennaku z’omwezi ziraga ddi eky’okuyiga lwe kinaayogerwako kisobozese ababuulizi okunoonyereza nga beetegekera essomero lya buli wiiki.
1. Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, n’Omwana w’omuntu ateekwa okuwanikibwa”? (Yok. 3:14, 15) [May. 6, it-1-E lup. 505]
2. Ddi abagoberezi ba Kristo lwe bafuna obulamu mu bujjuvu? (Yok. 6:53) [May. 13, w03 10/1 lup. 9 kat. 1]
3. Yesu yayigiriza atya abantu abatatuukiridde ebikwata ku Kitaawe? (Yok. 8:28) [May. 20, w11-E 4/1 lup. 7 kat. 3]
4. Eky’okuba nti Yesu ‘yakaaba’ nga mukwano gwe Laazaalo afudde, kituyigiriza ki? (Yok. 11:35) [May. 20, w08 7/1 lup. 28 kat. 3-5]
5. Yesu bwe yanaaza abayigirizwa be ebigere, kiki kye yali abayigiriza? (Yok. 13:4, 5) [May. 27, w99-E 3/1 lup. 31 kat. 1]
6. Omwoyo gwa Katonda gutuluŋŋamya gutya? (Yok. 14:26) [May. 27, w11 12/15 lup. 14-15 kat. 9]
7. Mu Yokaana 21:15, Yesu bwe yagamba nti “bino,” yali ayogera ku biki, era kiki kye tuyigamu? [Jun. 3, w08 4/15 lup. 32 kat. 11]
8. Okusinziira ku ebyo ebiri mu Ebikolwa 2:44-47 ne Ebikolwa 4:34, 35, mwoyo ki Abakristaayo gwe basaanidde okwoleka? [Jun. 10, w08 5/15 lup. 30 kat. 5]
9. Ebigambo ebiri mu Ebikolwa 7:59 biraga nti Siteefano yali asaba Yesu? [Jun. 17, w08 5/15 lup. 31 kat. 3]
10. Tuyinza tutya okukoppa Balunabba, era miganyulo ki gye tunaafuna? (Bik. 9:26, 27) [Jun. 24, bt-E lup. 65 kat. 19]