Ebirango
◼ Eby’okugaba mu Apuli: Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Bwe muba muzzeeyo eri abo abaasiima obubaka bwaffe, musobola okubawa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Musobola n’okubawa brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna, era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli. Maayi ne Jjuuni: Mugabe emu ku tulakiti zino wammanga: Kiki Abajulirwa ba Yakuwa kye Bakkiriza?, Ssuubi Ki olw’Abaagalwa Abaafa?, Olina Omwoyo Ogutafa?, Yakuwa y’Ani?, Ensi Eno Eneewonawo?, Obulamu mu Nsi Empya ey’Emirembe, ne Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma! Bwe basiima obubaka bwaffe, mubalage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli nga mukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, oba brocuwa Wuliriza Katonda oba Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna Jjulaayi ne Agusito: Mugabe brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! oba emu ku brocuwa zino wammanga: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Katonda Atwetaagisa Ki?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, Nnyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, The Divine Name That Will Endure Forever, oba brocuwa yonna ey’empapula 32.
◼ Weetegereze nti empapula ezimu teziriiko kintu.