Okwejjukanya
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Okitobba 31, 2011.
1. Lwaki tusaanidde okunywerera ku mateeka ga Yakuwa? (Zab. 119:60, 61) [w00-E 12/1 lup. 14 kat. 3]
2. Kya kuyiga ki ekiri mu Zabbuli 133:1-3? [w06 10/1 lup. 32 kat. 2]
3. Mu ngeri ki Yakuwa gye ‘yanoonyaamu’ Dawudi era ‘n’anoonyeza ddala ekkubo lye n’okwebaka kwe’? (Zab. 139:1, 3) [w06 10/1 lup. 32 kat. 5; w94 6/1 lup. 4 kat. 6]
4. Yakuwa “ayimiriza” oba “awanirira” abaweereza be nga boolekaganye na bizibu bya ngeri ki? (Zab. 145:14) [w04 2/1 lup. 10 kat. 11]
5. Mpisa ki ezireetera omusajja ayogerwako mu Engero 6:12-14 okutwalibwa ng’ataliiko ky’agasa? [w00-E 9/15 lup. 26 kat. 5-6]
6. Lwaki omuntu ow’amagezi ‘akkiriza ebiragiro’? (Nge. 10:8) [w01-E 7/15 lup. 26 kat. 1]
7. Omuntu ow’amagezi ayawukana atya ku muntu omusirusiru bwe kituuka ku ngeri gye beeyisaamu nga bayisiddwa bubi oba nga waliwo abawaayirizza? (Nge. 12:16) [w03-E 3/15 lup. 27 kat. 3-4]
8. Okuba n’endowooza ennuŋŋamu kitusobozesa kitya okulya “embaga etevaawo”? (Nge. 15:15) [w06-E 7/1 lup. 16 kat. 6]
9. Kiki ekizingirwa mu ‘kufuna okutegeera,’ era mu ngeri ki omuntu afuna okutegeera ‘gy’ayagalamu emmeeme ye’? (Nge. 19:8) [w99-E 7/1 lup. 18 kat. 4; it-1-E lup. 1059 kat. 1]
10. Okutegeera kuganyula kutya amaka? (Nge. 24:3) [w06 10/1 lup. 13 kat. 11; be lup. 32 kat. 1]