Okwejjukanya
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Apuli 25, 2011. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 20 ng’akwesigamya ku ebyo bye twayiga okuva nga Maaki 7 okutuuka mu wiiki etandika nga Apuli 25, 2011.
1. Mu ngeri ki ‘abantu b’omu mawanga ag’omu nsi gye baafuuka Abayudaaya’? (Es. 8:17) [w06 3/1 lup. 7 kat. 3]
2. Lwaki Sitaani yakkirizibwa okukiika mu maaso ga Yakuwa? (Yob. 1:6; 2:1) [w06 4/1 lup. 29 kat. 6; it-2-E lup. 16 kat. 4]
3. Sitaani yali ategeeza ki bwe yagamba nti, “Yobu atiira bwereere Katonda?” (Yob. 1:9) [w95 8/1 lup. 13 kat. 6]
4. Lwaki okukimanya nti ‘omutima gwa Yakuwa gwa magezi, era amaanyi ge mangi’ kyandituleetedde okwongera okumwesiga? (Yob. 9:4) [w07 6/1 lup. 18 kat. 16; it-2-E lup. 1190 kat. 3]
5. Ebigambo bya Erifaazi ebigamba nti omuntu anywa “obutali butuukirivu ng’amazzi” byoleka bitya endowooza ya Sitaani? (Yob. 15:16) [w10 2/15 lup. 20 kat. 1-2]
6. Kiki kye tuyigira ku kunakuwala kwa Yobu okulagibwa mu bigambo ebiri mu Yobu 19:2? [w94-E 10/1 lup. 32 kat. 1-5]
7. Kiki ekyayamba Yobu okukuuma obugolokofu bwe? (Yob. 27:5) [w09 4/15 lup. 6 kat. 17]
8. Tuyinza tutya okukoppa Yobu abalala bwe baba n’obwetaavu? (Yob. 29:12, 13) [w02 6/1 lup. 20 kat. 19; w94-E 9/15 lup. 24 kat. 2]
9. Mu ngeri ki okuwabula kwa Eriku gye kwali okwenjawulo ku kuwabula kwa mikwano gya Yobu abalala abasatu? (Yob. 33:1, 6) [w95-E 2/15 lup. 29 kat. 3]
10. Okufumiitiriza ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo kyanditukutteko kitya? (Yob. 37:14) [w06 4/1 lup. 32 kat. 4]