LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 3/11 lup. 4
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
km 3/11 lup. 4

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maaki: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Apuli ne Maayi: Watchtower ne Awake! Abo ababa balaze okusiima, mubawe tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli. Bwe muddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo oba ku nkuŋŋaana ennene naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli nga mukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Jjuuni: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku mulundi gwe muba musoose okubakyalira. Abantu bwe basangibwa nga bakalina, era nga tebaagala kuyiga naffe Bayibuli, ababuulizi bayinza okubawa akatabo, Okumanya, oba brocuwa Atwetaagisa Ki? oba Beera Bulindaala!

◼ Bw’oba owa obujulirwa omuntu ayogera olulimi Olukyayina, mulage mu katabo Nations awali olulimi Olukyayina (Olw’edda) (CH) ne Olukyayina (Olugonzeddwamu) (CHS) asobole okulondako olumwanguyira okusoma. Kimanyiddwa nti abantu abava mu nsi eyitibwa Hong Kong oba mu nsi eyitibwa Taiwan basinga kwagala kusoma ebitabo ebiri mu Lukyayina (Olw’edda) (CH), so ng’ate bo abava mu nsi eyitibwa China basinga kwagala kusoma ebitabo ebiri mu Lukyayina (Olugonzeddwamu) (CHS). Kyokka ku bikwata ku vidiyo oba obutambi bw’amaloboozi okuli ebitabo byaffe, kikulu okufaayo okumanya Olukyayina nnyinimu lw’ayogera era lw’ategeera obulungi. Okutwalira awamu, abantu okuva mu nsi zombi eya China n’eya Taiwan bategeera Olukyayina oluyitibwa Mandarin (CHM), so ng’ate bo abava mu nsi ya Hong Kong bategeera Olukyayina oluyitibwa Cantonese (CHC).

◼ Vidiyo eyitibwa Jehovah’s Witnesses—Organized to Share the Good News ejja kukubaganyizibwako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu Agusito. Ayagala okufuna vidiyo eno asobola okugiragiriza ng’ayitira mu kibiina amangu ddala nga bwe kisoboka.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza