Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Ssebutemba: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube okutandika okuyigiriza abantu Baibuli ku mulundi gwe muba musoose okubakyalira. Okitobba: Watchtower ne Awake! Abo ababa balaze okusiima, mubawe tulakiti eyitibwa Wandyagadde Okumanya Amazima?, era mufube okutandika okubayigiriza Baibuli. Noovemba: Brocuwa The Bible—What Is Its Message? Ebisingawo ebikwata ku kaweefube ow’okugaba brocuwa eno okwetoloola ensi yonna, bijja kututegeezebwa gye bujjako awo. Era muyinza okugaba ne brocuwa zino: A Book for All People, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwawo—Olizudde? Ddesemba: The Greatest Man Who Ever Lived. Mu maka bwe mubeeramu abaana, mugabe Learn From the Great Teacher.
◼ Okwogera okw’enjawulo okunaabaawo mu kiseera ky’Ekijjukizo mu 2011 kujja kuweebwa mu wiiki ya Apuli 25, 2011. Omutwe gw’emboozi gujja kubategeezebwa gye bujjako awo. Ebibiina ebinaaba n’okukyala kw’omulabirizi oba olukuŋŋaana olunene ku wiikendi eyo, bijja kuba n’okwogera okw’enjawulo ku wiiki ennaddako. Tewali kibiina kisaanidde kuba na kwogera kwa njawulo nga Apuli 25 terunnatuuka.