LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/10 lup. 7
  • Okwejjukanya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
km 8/10 lup. 7

Okwejjukanya

Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Agusito 30, 2010. Akubiriza Essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 20 ng’akwesigamya ku ebyo bye twayiga okuva nga Jjulaayi 5 okutuuka mu Agusito 30, 2010.

1. Okufumiitiriza ku kusaba kwa Sulemaani ng’awaayo Yeekaalu kinaatuyamba kitya okusiima engeri za Yakuwa? (1 Bassek. 8:22-53) [w05 8/1 lup. 30 kat. 2; it-2-E lup. 989 kat. 4]

2. Wadde nga Dawudi yakola ensobi nnyingi, lwaki kiyinza okugambibwa nti yatambula ne Yakuwa “n’omutima ogw’amazima”? (1 Bassek. 9:4) [w97-E 5/1 lup. 5 kat. 1-2]

3. Lwaki kabaka omukazi ow’e Seeba yagamba Sulemaani nti: “Abaddu bo bano balina omukisa, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira amagezi go.”? (1 Bassek. 10:4-8) [w99-E 11/1 lup. 20 kat. 5-7]

4. Kiki kye tuyigira ku kiragiro Yakuwa kye yawa ekikwata ku Abiya okuziikibwa obulungi? (1 Bassek. 14:13) [cl lup. 244 kat. 11]

5. Lwaki ekiseera Eriya kye yagenderamu okulaba Akabu omulundi ogwasooka kyali kikulu? (1 Bassek. 17:1) [w08-E 4/1 lup. 19, akas.]

6. Eriya yali ategeeza ki bwe yakozesa ebigambo “okutta aga n’aga nga mulowooza wabiri”? (1 Bassek. 18:21) [w08 1/1 lup. 19 kat. 3-4]

7. Nga bwe kyeyolekera mu ekyo ekyatuuka ku Eriya, lwaki Yakuwa akozesa amaanyi ge ku lw’abaweereza be? (1 Bassek. 19:1-12) [cl lup. 43 kat. 15-16]

8. Lwaki Nabosi yagaana okuguza Akabu olusuku lwe olw’emizabbibu, era kino tukiyigirako ki? (1 Bassek. 21:3) [w97 8/1 lup. 25 kat. 18-20]

9. Mu ngeri ki omukazi ow’e Sunemu gye ‘yajjanjabamu’ Erisa? (2 Bassek. 4:13) [w97-E 10/1 lup. 30 kat. 6-8]

10. Lwaki Erisa yagaana ekirabo Naamani kye yamuwa? (2 Bassek. 5:15, 16) [w05 10/1 lup. 19 kat. 2]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza