LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/10 lup. 4
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
km 4/10 lup. 4

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Apuli ne Maayi: Watchtower ne Awake! Bwe muddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo oba ku nkuŋŋaana ennene naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mubawe akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Tubeere n’ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli. Jjuuni: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Abantu abasangiddwa nga bakalina, ababuulizi bayinza okubawa akatabo Sinza Katonda Omu Ow’Amazima, Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwawo, oba brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki? Jjulaayi ne Agusito: Ababuulizi bayinza okugaba brocuwa zonna ezirina empapula 32 ze mulina mu terekero ly’ebitabo mu kibiina. Okusingira ddala mugabe brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo Olizudde?, ne Beera Bulindaala! Ekibiina bwe kiba tekirina brocuwa zino essatu, muziragirize mu kiseera ekituufu.

◼ Mu wiiki ezinaabeerangamu olukuŋŋaana lwa disitulikiti, olukuŋŋaana lw’ekitundu, n’olukuŋŋaana olw’olunaku olumu, ebibiina tebijja kubeeranga na lukuŋŋaana olw’Okusoma Baibuli okw’Ekibiina, Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza. Nolw’ensonga eyo, tukubiriza bonna okwesomesa ebitundu eby’enkuŋŋaana zino essatu ku lwabwe, gamba nga mu kiseera ky’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka.

◼ Okwogera okw’enjawulo okunaaweebwa mu kiseera ky’Ekijjukizo eky’omwaka 2010 kujja kuba n’omutwe ogugamba nti “Emirembe n’Obutebenkevu Ebya Nnamaddala Binaabaawo Ddi?”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza