LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 11/09 lup. 11
  • Akasanduuko K’ebibuuzo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Akasanduuko K’ebibuuzo
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Laba Ebirala
  • Lwaki Tusaanidde Okukuŋŋaananga Awamu Okusinza?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa Ziyinza Kukuganyula Zitya?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Okuwa Obujulirwa nga Tukozesa Essimu kya Muganyulo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Olina ky’Okola Okulaba Nti Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo Zizimba?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 11/09 lup. 11

Akasanduuko K’ebibuuzo

◼ Lwaki kyetaagisa okukozesa amagezi ku bikwata ku abo abasaanidde okuyungibwa ku ssimu basobole okuganyulwa mu nkuŋŋaana z’ekibiina?

Ebibiina bingi bikoze enteekateeka okuyamba abo abatasobola kujja mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka olw’obulwadde oba olw’ebizibu ebirala ebiteebereka, basobole okuziwuliriza ku ssimu nga bali mu maka gaabwe. Okusobola okukakasa nti enteekateeka eno ekozesebwa abo abalina obwetaavu ng’obwo, kyetaagisa okwegendereza ennyo era n’okuba n’entegeka ennungi. N’olwekyo, abakadde abavunaanyizibwa ku nteekateeka ng’eno, balina okufaayo ku ngeri gy’ekozesebwamu kisobozese ‘ebintu byonna okukolebwa mu ngeri esaanira era entegeke obulungi.’​—1 Kol. 14:40.

Abakadde basaanidde okusooka okulowooza ku babuulizi abali mu kibiina kyabwe abalina obunafu mu mubiri, abalina obulwadde obw’olukonvuba, oba abo abatasobola kuva waka olw’ensonga ezitali zimu. N’omuyizi wa Baibuli akulaakulana obulungi atasobola kuva waka, ayinza okuganyulwa mu nteekateeka eno era n’abalibwa ku abo ababa babaddewo mu lukuŋŋaana. Bwe kiba tekisoboka kubayunga ku ssimu, bayinza okukolerwa enteekateeka endala, gamba ng’okubakwatira enkuŋŋaana ku ntambi.

Kya lwatu, omuntu aganyulwa nnyo bw’abeerawo ye kennyini mu nkuŋŋaana. Okukuŋŋaana awamu n’ab’oluganda mu Kizimbe ky’Obwakabaka kitusobozesa ‘okuzziŋŋanamu amaanyi’ era kiyamba abapya okutegeera omuganyulo oguli mu kubaawo mu nkuŋŋaana. Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana, tuganyulwa nnyo mu byokulabirako ebiragibwa, abakadde basobola okutuwa obuyambi, era ab’oluganda mu kibiina basobola okutuzzaamu amaanyi. Ebyo mwannyinaffe omu nnamukadde bye yayogera oluvannyuma lw’okumugwa mu kifuba ng’ava mu Kizimbe ky’Obwakabaka ddala bituufu. Yagamba nti: “Kino tosobola kukifunira ku ssimu!”​—Bar. 1:11, 12.

Okufaananako Ana “ataayosanga kugenda mu yeekaalu,” leero, bannamukadde bangi bafuba okubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina obutayosa okusinziira ku busobozi bwabwe. (Luk. 2:36, 37) Wadde ng’oluusi bayungibwa ku ssimu bwe kiba nga kyetaagisizza, bakitwala nti okubaawo mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka kye kisinga okuba eky’omuganyulo. Nga tukoppa ekyokulabirako kyabwe ekirungi, ka tweyongere okufuba ennyo okubaawo mu nkuŋŋaana nga tusinza Yakuwa, Katonda waffe.​—Zab. 95:1-3, 6; 122:1.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza