LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/09 lup. 4
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Laba Ebirala
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 4/09 lup. 4

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Maaki 1

“Kisobola okutubeerera ekizibu ennyo okukola ekintu ekituufu nga waliwo abatupikiriza okukola ekikyamu. Ggwe olowooza kiki ekisobola okutuyamba ne tutekkiriranya? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Engero 29:25.] Ekitundu kino kiraga ensonga ttaano lwaki tusaanidde okutya okunyiiza Katonda okusinga abantu.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 12.

Awake! Maaki

“Ffenna twagala nnyo okuba n’emikwano emirungi. Ngeri ki ze wandyagadde mukwano gwo okuba nazo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Baibuli ky’eyogera ku w’omukwano omulungi. [Soma Engero 17:17.] Ekitundu kino kiwa amagezi ku ngeri gy’oyinza okulondamu emikwano emirungi era n’engeri gy’osobola okuba ow’omukwano omulungi eri abalala.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 18.

The Watchtower Apuli 1

“Nandyagadde okumanya endowooza gy’olina ku bigambo bya Yesu bino. [Soma Yokaana 3:3.] Olowooza kitegeeza ki okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okutegeera obulungi ebyo Yesu bye yayogera kijja kubaako kye kikola ku bulamu bwaffe ne ku ssuubi lyaffe ery’ebiseera eby’omu maaso. Magazini eno ennyonnyola ensonga lwaki kiri bwe kityo.”

Awake! Apuli

“Abayizi bangi balabika nga beeraliikirivu nnyo. Olowooza waliwo ekikyuse okuva mu kiseera bazadde baabwe we baasomera? [Muleke abeeko kyaddamu.] Okweraliikirira ekisukkiridde kuyinza okuvaamu emitawaana mingi. [Soma Omubuulizi 7:7a.] Magazini eno eraga engeri abantu abakulu gye basobola okuyamba abaana abato okwaŋŋanga embeera eno.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza