Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Noovemba: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? era tufube okufuna abayizi ba Baibuli. Era tuyinza n’okugaba akatabo Okumanya. Ddesemba: Tujja kugaba ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived. Abantu bwe bagamba nti balina abaana, bawe ekitabo Learn From the Great Teacher. Jjanwali: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Abantu bwe baba ng’akatabo kano bakalina, bayinza okuweebwa akatabo konna ak’empapula 192 akaakubibwa ku mpapula ezimyukiridde oba akatabo konna akaakubibwa ng’omwaka 1992 tegunnatuuka. Febwali: Mugabe akamu ku butabo buno bwe muba nga mubulina, Is There a Creator Who Cares About You?, The Bible—God’s Word or Man’s?, oba Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka.
◼ Ababuulizi bonna abatannaba kujjuzaamu kaadi eyitibwa Durable Power of Attorney (DPA) oba eyo eyitibwa AMD, bakubirizibwa okukikola. Kaadi eno ekuyamba obutateekebwamu musaayi. Abakadde bajja kuwa ababuulizi ng’abo obuyambi obwetaagisa.—Laba olupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2006.
◼ Okuva nga Jjanwali 1, 2009, “omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde” ajja kuba ng’ayitibwa “omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde.”
◼ Ebitabo byonna ne magazini eziri mu kibiina bisaanidde okubalibwa nga Ddesemba 31, 2008, oba nga lunaatera okutuuka. Okubala kuno kufaanagana n’okwo omutabaganya w’ebibiina ku nsonga ezikwata ku bitabo kw’akola buli mwezi, era omuwendo gwabyo gusaanidde okuteekebwa ku foomu eyitibwa Literature Inventory (S-18). Omuwendo gwa magazini zonna eziri mu kibiina guyinza okufunibwa okuva eri abaweereza abakola ku magazini mu buli kibiina. Omuwandiisi w’ekibiina ekitabaganya alina okukubiriza okubala kuno. Ye awamu n’oyo n’akubiriza akakiiko k’abakadde mu kibiina ekitabaganya basaanidde okussaako emikono ku foomu. Buli kibiina ekitabaganya kijja kufuna foomu ssatu eziyitibwa Literature Inventory (S-18). Musabibwa okuweereza kopi emu ku ttabi obutasukka Jjanwali nga 6, ate ey’okubiri mugiteeke mu fayiro zammwe. Kopi ey’okusatu muyinza okugikozesa mu kubala.