LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 10/08 lup. 8
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Laba Ebirala
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Kye Tulina Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 10/08 lup. 8

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Seb. 1

“Olowooza ludda wa gye tuyinza okujja amagezi ageesigika nga tulina ebintu ebikulu bye tusalawo? [Muleke abeeko ky’addamu. N’oluvannyuma soma Engero 3:5, 6.] Ekitundu kino kissa essira ku magezi agava eri Katonda agatuyamba okutegeera ebizibu ebiyinza kuvaamu nga tetunnabaako kye tusalawo.” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula 8.

Awake! Seb.

“Olowooza kigendererwa kya Katonda abantu okubonaabona olw’ebbula ly’emmere eririwo mu nsi leero? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze engeri gy’agenda okugonjoolamu ekizibu kino. [Soma Zabbuli 72:16.] Ekitundu kino kinnyonnyola engeri Katonda gy’ajja okufuulamu ensi Olusuku olulungi ennyo.” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula 7.

The Watchtower Okit. 1

“Olw’obutali butebenkevu obuliwo leero, abantu bangi beeraliikirira ebiseera eby’omu maaso. Kiki ekikuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekisuubizo kya Baibuli kino. [Soma Isaaya 65:17.] Magazini eno etuwa ensonga ennungi kwe tusinziira okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso.”

Awake! Okit.

“Internet si mbi, naye esobola okuba ey’akabi ennyo eri abaana. Olowooza tuyinza tutya okubakuuma? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze amagezi gano agatuweebwa. [Soma era onnyonnyole Engero 18:1.] Guno gwe gumu ku misingi omukaaga egiri mu Baibuli egyogerwako mu kitundu kino era egisobola okuyamba abazadde okukuuma abaana baabwe.” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula 8.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza