LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/08 lup. 4
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Laba Ebirala
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Ennyanjula Eziyinza Okukozesebwa mu Kugaba Brocuwa
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 7/08 lup. 4

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Jun. 1

“Olowooza amadiini gonna gasiimibwa Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Kiba kirungi okumanya ekyo Katonda kye yakolawo Abaisiraeri bwe baakoppa ensinza y’amawanga agaali gabeetoolodde. [Soma Ezeekyeri 6:6.] Ekitundu kino kiddamu ekibuuzo ekigamba nti, ‘Ddala Katonda Afaayo ku Ngeri Gye Tumusinzaamu?’ ” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 9.

Awake! Jun.

“Wandiba ng’okkiriziganya nange nti emyaka gy’obutiini giba mizibu nnyo eri abatiini awamu ne bazadde baabwe. Olowooza abazadde bwe bagoberera amagezi gano, kisobola okubayamba okukuza obulungi abaana baabwe? [Soma Yakobo 1:19. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Ojja kuganyulwa nnyo bw’onoosoma ebirowoozo ebirungi ebyesigamiziddwa ku Baibuli ebiri mu magazini eno.”

The Watchtower Jul. 1

“Ffenna tulumwa nnyo bwe tufiirwa abaagalwa baffe. Olowooza Baibuli esobola okutuyamba nga tuli mu mbeera ng’eyo? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Zabbuli 55:22.] Magazini eno erimu agamu ku magezi amalungi ennyo agasangibwa mu Baibuli agasobola okutuyamba okwaŋŋanga embeera ng’eyo.”

Awake! Jul.

“Obufumbo bweyongedde okubaamu ebizibu, era bangi ku bafumbo bagattulula obufumbo bwabwe. Olowooza kiyinza okuba eky’omuganyulo eri abafumbo singa bagoberera amagezi gano? [Soma Engero 12:⁠18. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eyogera ku misingi emirala egiri mu Baibuli egisobola okuyamba abafumbo okunyweza obufumbo bwabwe.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza