LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/08 lup. 3
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 7/08 lup. 3

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino wammanga ez’empapula-32 eyinza okugabibwa: A Book for All People, A Satisfying Life​—How to Attain It, Beera Bulindaala!, Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo​—Olizudde?, Emyoyo gy’Abafu​—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?, “Look! I Am Making All Things New,” Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Omwagalwa Wo bw’Afa, Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda, Our Problems​—Who Will Help Us Solve Them?, Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, What Is the Purpose of Life​—How Can You Find It?, ne Will There Ever Be a World Without War?, era ne brocuwa endala zonna eziri mu nnimi ezoogerwa mu kitundu kyammwe. Ssebutemba: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Fuba okufuna abayizi ba Baibuli ku mulundi gw’oba osoose okubakyalira. Bwe kiba nti akatabo ako abantu bakalina, bannyonnyole engeri gye kayinza okubaganyulamu ng’obalaga mu bufunze ngeri gye tukakozesaamu okuyigiriza abantu Baibuli. Okitobba: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’osanga omuntu ayagala okumanya ebisingawo, muwe tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? era okubaganye naye ebirowoozo ku tulakiti eyo ng’olina ekiruubirirwa eky’okutandika okuyiga naye Baibuli.

◼ Okuva bwe kiri nti omwezi gwa Agusito gulimu wiikendi ttaano, gwandibadde mwezi mulungi okukoleramu nga payoniya omuwagizi.

◼ Okutandika ne Ssebutemba, abalabirizi b’ebitundu bajja kuwa okwogera kwa bonna okulina omutwe “Tambulira mu Kkubo ery’Obugolokofu.”

◼ Ofiisi y’ettabi tekola ku kusaba kw’ebitabo okw’ab’oluganda kinnoomu. Omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde asaanidde okukakasa nti buli mwezi ekibiina kitegeezebwa nti kigenda kulagiriza ebitabo ku ofiisi y’ettabi, kisobozese abo abaagala ebitabo okuwaayo okusaba kwabwe eri ow’oluganda akola kubitabo. Ow’oluganda akola ku bitabo asaanidde okuba ng’amanyi bulungi ebyo ebitalina kulagirizibwa okuggyako nga waliwo abisabye.

◼ Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza ke kasaanidde okukozesebwa mu kutandika okuyigiriza abantu Baibuli so si brocuwa Atwetaagisa Ki? Tuyinza okweyongera okugaba brocuwa Atwetaagisa Ki? nga tuli mu buweereza bw’ennimiro okutuusa lwe zinnaggwaawo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza