Osobola Okufuna Obugagga!
1. Lwaki osaanidde okulowooza ku ky’okuweereza nga payoniya owa bulijjo?
1 Oyagala okwongera ku ssanyu n’obumativu by’olina mu bulamu? Ofuna essanyu n’obumativu mu kuyamba abalala? Oyagala okwongera ku buweereza bwo eri Yakuwa? Bwe kiba bwe kityo, osaanidde okulowooza ku ky’okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Kya lwatu, si buli omu nti asobola okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Abamu bayinza obutasobola kuweereza nga bapayoniya aba bulijjo olw’obulwadde, olw’obuvunaanyizibwa bw’amaka bwe balina awamu n’obulala Baibuli bw’etukubiriza okutuukiriza.
2. Yogera ku bimu ku by’obugagga eby’omwoyo bapayoniya aba bulijjo bye bafuna.
2 Ebigambo bya Sulemaani ebyaluŋŋamizibwa bikwataganya omukisa gwa Yakuwa n’obugagga obw’omubiri. (Nge. 10:22) Leero, omukisa gwa Yakuwa okusingira ddala gutusobozesa okufuna obugagga obw’eby’omwoyo. Bapayoniya aba bulijjo bafuna obugagga ng’obwo mu bungi. Ng’ekyokulabirako, bafuna essanyu lingi eriva mu kugabira abalala bwe ‘bagula ebiseera’ okuva ku bintu bye bandibadde beekolera. (Bak. 4:5; Bik. 20:35) Yakuwa alaba okufuba kwabwe okw’okwagala era akusiima nnyo. ‘Eby’obugagga ebyo eby’omu ggulu’ tebirikendeera kuba bya muwendo. (Mat. 6:20; Beb. 6:10) Okugatta ku ekyo, bapayoniya bwe beeyongera okuba ‘n’eriiso eriraba awamu’ era n’okwesiga Yakuwa nti ajja kukola ku byetaago byabwe, enkolagana gye balina naye yeeyongera okunywera.—Mat. 6:22, 25, 32; Beb. 13:5, 6.
3. Njawulo ki eriwo wakati w’okunoonya eby’obugagga eby’omwoyo n’okunoonya eby’obugagga eby’omubiri?
3 Emirundi mingi, okunoonya eby’obugagga eby’omubiri kireetera abantu okufuna “okwegomba okungi okw’obusirusiru okwonoona.” (1 Tim. 6:9, 10; Yak. 5:1-3) Kino si bwe kiba eri abo abafuna omukisa gwa Yakuwa. Okumala ebiseera bingi mu buweereza bw’ennimiro kiyamba bapayoniya aba bulijjo okusigala nga banywevu mu by’omwoyo era n’okussa ebirowoozo byabwe ku bintu ebisinga obukulu. (Baf. 1:10) Ow’oluganda omu eyali akola nga yinginiya, yaleka omulimu ogwo olw’okuba gwali gumutwalira ebiseera bingi era n’atandika okuweereza nga payoniya. Yagamba bw’ati: “Omulimu gwange gwali gunkooya nnyo. Naye okuweereza nga payoniya tekinkooya. Kati nnyamba abantu nga mbayigiriza amazima. Kino kimpadde essanyu lingi nnyo n’obumativu okusinga omulimu gwe nnali nkola.”
4. Miganyulo ki bapayoniya gye bafuna mu kuyamba abalala?
4 Baganyula Abalala: Leero, buli omu ayolekaganye ‘n’ebiro eby’okulaba ennaku.’ (2 Tim. 3:1) Abantu bonna beetaaga okufuna essuubi. Abalangirizi b’Obwakabaka basanyuka nnyo bwe balaba omuntu abadde omwennyamivu ng’afuna essanyu oluvannyuma lw’okuwuliriza amawulire amalungi. Nga bapayoniya aba bulijjo, abawaayo essaawa ezisukka mu 800 buli mwaka mu mulimu gw’okuwonya obulamu, bafuna essanyu lingi nnyo!—1 Tim. 4:16.
5, 6. Kiki ekiyinza okukusobozesa okuweereza nga payoniya owa bulijjo?
5 Olowooza ku ky’okuweereza nga payoniya owa bulijjo? Kiyinza okukwetaagisa ‘okwegulira ebiseera’ okuva ku bintu ebitali bikulu nnyo. (Bef. 5:15, 16) Kino bangi bakikoze nga bakendeeza ku nsaasaanya yaabwe ne ku biseera bye bamala ku mirimu gyabwe, ne kibasobozesa okwongera ku budde bwe bamala mu buweereza bw’Obwakabaka. Naawe osobola okukola enteekateeka n’obeegattako?
6 Saba Yakuwa akuwe amagezi osobole okukola enteekateeka ennungi. (Yak. 1:5) Mikisa ki gy’osuubira okufuna? Ojja kufuna obugagga bungi obw’eby’omwoyo! Ate era, Yakuwa ajja kukola ku byetaago byo eby’omubiri. (Mat. 6:33) Abo abagezesa Yakuwa mu ngeri eno bajja kufuna ‘emikisa mingi nnyo.’—Mal. 3:10.