LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 1/08 lup. 7
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 1/08 lup. 7

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjanwali: Tujja kugaba akatabo konna ak’empapula 192 ezimyukiridde oba ako akaakubibwa ng’omwaka 1991 tegunnatuuka. Ebibiina ebitalina butabo obwo biyinza okugaba akatabo Okumanya oba brocuwa Beera Bulindaala! Febwali: Tujja kugaba akatabo Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka oba Okumanya. Maaki: Tujja kugaba akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era tufube nnyo okufuna abayizi ba Baibuli. Apuli ne Maayi: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Fuba nnyo okuddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo ne ku mboozi ya bonna ey’enjawulo naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Ddayo eri abantu ng’abo ng’olina ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli.

◼ Okuva bwe kiri nti omwezi gwa Maaki gulimu wiikendi ttaano, gujja kuba mulungi nnyo okuweererezaamu nga payoniya omuwagizi.

◼ Okutandika ne Febwali, era n’obutasukka Maaki 2, okwogera kwa bonna okunaaweebwa abalabirizi b’ebitundu kujja kuba n’omutwe: “Wa Gy’Oyinza Okufuna Obuyambi mu Biseera eby’Okulaba Ennaku?”

◼ Ebibiina bisaanidde okukola enteekateeka ennungi ez’okukwata Ekijjukizo ky’omwaka guno ku Lwomukaaga, nga Maaki 22, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Wadde ng’okwogera kuyinza okutandika nga bukyali, obubonero bw’Ekijjukizo tebulina kuyisibwa okutuusa ng’enjuba emaze okugwa. Mwebuuze ku abo abakola ku mbeera y’obudde mu kitundu kyammwe musobole okumanya ddi enjuba lw’eneegwa. Wadde nga kyandibadde kirungi buli kibiina okubeera kyokka ku mukolo gw’Ekijjukizo, ekyo kiyinza obutasoboka. Ebibiina ebiwerako bwe biba bikozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka kimu, oboolyawo ekibiina ekimu oba n’okusingawo biyinza okufuna ekifo ekirala eky’okukozesa akawungeezi ako. Tuwa ekirowoozo nti, bwe kiba kisoboka, wandiyiseewo ekiseera ekitakka wansi w’eddakiika 40 ng’ekibiina ekirala tekinnatandika mukolo ogwo, kisobozese ab’oluganda okunyumyako ne bannaabwe ng’omukolo guwedde. Era mwandirowoozezza ku mbeera z’eby’entambula n’awanaasimbibwa ebidduka, nga kw’otadde okutikka n’okutikkula abasaabaze. Akakiiko k’abakadde ke kasaanidde okusalawo enteekateeka ezinaasinga okuba ennungi mu kitundu kyammwe.

◼ Abawandiisi b’ebibiina basaanidde okukakasa nti balina ebbaluwa eyitibwa pioneer appointment Letter (S-202) eya buli payoniya ali mu kibiina. Bwe baba nga tebagirina, basaanidde okutegeeza ofiisi y’ettabi mu buwandiike.

◼ Okutandika nga Agusito 4, 2008, tujja kusoma akatabo Live With Jehovah’s Day in Mind mu Lukuŋŋaana olw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza