Ebirango
◼ Ddesemba: Tujja kugaba ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived. Oba tuyinza okugaba akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa oba Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka. Jjanwali: Tujja kugaba akatabo konna ak’empapula 192 akalina empapula ezimyukiridde oba ako akaakubibwa ng’omwaka 1991 tegunnatuuka. Ebibiina ebitalina butabo obwo biyinza okugaba akatabo Okumanya oba brocuwa Beera Bulindaala! Febwali: Tujja kugaba obutabo Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka oba Okumanya. Maaki: Tujja kugaba akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era tufube nnyo okufuna abayizi ba Baibuli.
◼ Omuntu yenna aba alondeddwa omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde, asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina eby’omwezi gwa Ssebutemba, Okitobba, ne Noovemba. Temusaanidde kukozesa muntu y’omu emirundi egy’omuddiriŋŋanwa okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina. Nga kino kimaze okukolebwa, ekibiina kisaanidde okutegeezebwa nga lipoota y’eby’embalirira eddako emaze okusomebwa.—Laba foomu eyitibwa Instructions for Congregation Accounting (S-27).
◼ Musabibwa okwetegereza nti Ekijjukizo ky’omwaka 2009 kijja kubeerawo ku Lw’Okuna, Apuli 9, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Mutegeezebwa nga bukyali musobole okukola entegeka ezeetaagisa ez’okufuna ebifo eby’okukuŋŋaaniramu, bwe kiba nti ebibiina ebiwerako byeyambisa Ekizimbe ky’Obwakabaka kimu ng’era kyetaagisa okufunayo ebifo ebirala. Mu mbeera ng’eyo, abakadde basaanidde okukola endagaano ne bannannyini bifo ebyo okukakasa nti tewajja kubaawo kutaataaganyizibwa kwonna mu kizimbe ekyo.