LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 12/07 lup. 1
  • Tuteekwa Okweyongera Okuba Abanyiikivu mu Buweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Tuteekwa Okweyongera Okuba Abanyiikivu mu Buweereza
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Laba Ebirala
  • “Mwake n’Omwoyo”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Mu Kiseera ky’Ekijjukizo, Onooba Munyiikivu nga Yakuwa ne Yesu?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Weeyongere Okubuulira n’Obunyiikivu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ogoberera Kristo mu Bujjuvu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 12/07 lup. 1

Tuteekwa Okweyongera Okuba Abanyiikivu mu Buweereza

1 Okuva mu 1992, buli mwaka Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna babadde bamala essaawa ezisukka mu kawumbi kamu mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti naffe tulina kye twakolako mu mulimu ogwo!​—Mat. 28:19, 20.

2 Kya lwatu, Yakuwa y’asaanidde okwebazibwa era n’okutenderezebwa kubanga y’atusobozesezza okwenyigira mu buweereza buno mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku.’ (2 Tim. 3:1) Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okweyongera okuba abanyiikivu mu mulimu guno omukulu ennyo?

3 Ebitukubiriza Okuba Abanyiikivu: Okwagala okw’amaanyi kwe tulina eri Katonda ne muliraanwa waffe, era n’okuba nti twagala nnyo okutuukiriza okwewaayo kwaffe, bye bitukubiriza okwenyigira mu mulimu gw’Obwakabaka. (Mat. 22:37-39; 1 Yok. 5:3) Okwagala kutukubiriza okwerekereza ne tusobola okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira.​—Luk. 9:23.

4 Fuba Okusigala ng’Oli Munyiikivu: Setaani omulabe waffe akola kyonna ky’asobola okulaba nti tulekera awo okuba abanyiikivu mu buweereza. Ebimu ku ebyo by’akozesa okutumalamu amaanyi bye bintu eby’omu nsi ebiwugula, obuzibu bwe tusanga mu kweyimirizaawo, okweraliikirira olw’obulamu bwaffe obugenda bwonooneka, n’abantu be tubuulira nga tebeefiirayo.

5 N’olwekyo, tuteekwa okufuba ennyo okusobola okusigala nga tuli banyiikivu. Kikulu nnyo gye tuli okukulaakulanya ‘okwagala kwe twalina olubereberye.’ Kino kizingiramu okusoma n’okufumiitiriza obutayosa ku Kigambo kya Katonda, Baibuli, era n’okukozesa enteekateeka zonna ez’eby’omwoyo “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” z’atukolera.​—Kub. 2:4; Mat. 24:45; Zab. 119:97.

6 Nga bwe kyeyolekera obulungi mu bunnabbi bwa Baibuli, olunaku lwa Yakuwa olw’okuzikiririzaako abantu abatatya Katonda lubindabinda. (2 Peet. 2:3; 3:10) Okuva bwe kiri nti olunaku olwo lubindabinda, ka tufube okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu ogukolebwa kati ogw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza