LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 9/07 lup. 1
  • Ababuulizi b’Obwakabaka Abaagalwa:

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ababuulizi b’Obwakabaka Abaagalwa:
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Laba Ebirala
  • Biki Ebikolebwa ku Ofiisi Zaffe ez’Amatabi?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Branch Letter
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Okugaziya Obuweereza Bwaffe
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Branch Letter
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 9/07 lup. 1

Branch Letter

Ababuulizi b’Obwakabaka Abaagalwa:

Tuli basanyufu nnyo okulaba engeri omulimu gwaffe gye gwakulaakulanamu mu East Africa mu mwaka gw’obuweereza 2007! Bapayoniya bangi ab’enjawulo n’aba bulijjo baweerezeddwa okubuulira mu bitundu ebitali bimu, era balina kinene nnyo kye bakoze mu mulimu gw’okubuulira. Omulimu gw’okuzimba ettabi lya Tanzania gugenda bulungi. Kyali kya ssanyu nnyo okulaba ng’ettabi lya Burundi liweebwayo mu Noovemba 25,2006, erya Rwanda mu Ddesemba 2, 2006, n’erya Uganda mu Jjanwali 20, 2007. Sudan yafuna entikko empya ey’ababuulizi 1,508 mu mwezi gwa Apuli. Kitwetaagisa okweyongera okusabira baganda baffe ab’omu Eritrea. Kati we twogerera, ab’oluganda 23 bali mu kkomera mu Eritrea era ng’abamu ku bo baakamalayo emyaka egisukka mu 12.

Obukadde n’obukadde bw’obupapula bw’Amawulire gw’Obwakabaka Na. 37, “Enkomerero y’Eddiini ez’Obulimba Eri Kumpi!” bwagabibwa mu kitundu kyaffe kyonna. Oluvannyuma lw’okufuna akapapula kano era n’okukasoma, mwannyinaffe ow’omu United States eyali aweddemu amaanyi mu by’omwoyo yabulwa otulo. Ku Ssande eyaddako, yagenda mu nkuŋŋaana era n’asaba okuyigirizibwa Baibuli. Abo abaasiima obubaka obwo baakozesa endagiriro eri ku kapapula ako okusaba okuweerezebwa brocuwa eyitibwa Beera Bulindaala! n’okuyigirizibwa Baibuli.

Ekigendererwa kya kaweefube ng’oyo kwe kuyamba abantu abeesimbu okuyiga ekyo ddala Baibuli ky’eyigiriza. (Mat. 28:19, 20) Bw’oba obuulira, weetegereze abo abaagala okumanya ebisingawo, era obaddire ng’olina ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli. Tuli basanyufu okukolera awamu nammwe mu mulimu guno omukulu, era tubalamusizza nnyo.

Ffe baganda bammwe,

Ku ofiisi y’ettabi lya Burundi, Kenya, Tanzania ne Uganda

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza