Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Kiki ekisaanidde okuteekebwa awatimbibwa amabaluwa g’ekibiina?
Ekifo awatimbibwa amabaluwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka kibaako ebintu bingi ebikwata ku mirimu gy’ekibiina. Tewali kisaanidde kutimbibwa mu kifo ekyo ng’omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde takkirizza.
Ebimu ku ebyo ebitera okutimbibwa mu kifo ekyo mwe muli: Enteekateeka y’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda n’ey’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza awamu n’olukalala lw’abo ababa baweereddwa ebitundu mu nkuŋŋaana ezo zombi, olukalala oluliko Emboozi za Bonna ezijja okuweebwa mu kibiina, olukalala oluliko abo abalina okukola nga bassentebe n’abo abalina okusoma Omunaala gw’Omukuumi, amannya g’abo abalina okubeera mu bibinja eby’enjawulo eby’Okusoma Ekitabo n’ekifo ebibinja ebyo gye biri, ebyo ebikwata ku kukyala okw’omulabirizi w’ekitundu okunaddako, ebikwata ku nkuŋŋaana ennene ezijja okubaawo, n’olukalala lw’abo abalina okulongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka. Oluusi abakadde bategeezebwa okubaako ebbaluwa ezimu oba ebintu ebirala bye batimba mu kifo ekyo. Singa wabaawo ekintu kyonna ekitatera kutimbibwa mu kifo ekyo, abakadde bayinza okusalawo obanga ddala kisaanira okutimbibwa.
Wadde ng’ekirango ekiri mu bufunze ekikwata ku mbaga ejja okubaawo mu Kizimbe ky’Obwakabaka kiyinza okusomebwa mu lumu ku nkuŋŋaana, ekirango ng’ekyo tekisaanidde kutimbibwa. Era kyandibadde tekisaanira kuteeka mu kifo ekyo ekirango ekikwata ku bubaga obw’okwesanyusaamu, okuva bwe kiri nti obubaga ng’obwo tebukwatagana na mirimu gya kibiina.—Laba Watchtower eya Apuli 15, 1984, olupapula 15; Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjuuni 1975, olupapula 4, n’aka Maayi 1970, olupapula 8.
Ekifo awatimbibwa amabaluwa g’ekibiina kirina okukuumibwa nga kirabika bulungi era nga kisikiriza. Kirina okuba nga kigazi bulungi okusobola okugyako ebintu ebyo byonna ebyogeddwako waggulu. Ebintu ebiba bitakyetaagisa oba ebyo ekibiina bye kiba kimaze okutegeera birina okuggyibwako mu bwangu. Ekizimbe ky’Obwakabaka bwe kiba nga kikuŋŋaanirwamu ebibiina ebisukka mu kimu, buli kibiina kirina okuba n’ekifo awatimbibwa amabaluwa ekyakyo ku bwakyo. Kyandibadde kirungi omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu omulala yenna gw’aba awadde obuvunaanyizibwa, okukebera ebiri mu kifo ekyo buli luvannyuma lw’akabanga okusobola okukakasa nti ebintu byonna ebiriko bikyetaagisa, bisaanira, era bitegekeddwa bulungi.