LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/07 lup. 1
  • Tuli Basanyufu Okuweereza Yakuwa n’Obunyiikivu!

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Tuli Basanyufu Okuweereza Yakuwa n’Obunyiikivu!
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Laba Ebirala
  • Ennimiro Zituuse Okukungula
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Munyiikirire Omulimu gw’Okukungula!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Mubeere Abakunguzi Abasanyufu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Weenyigire mu Bujjuvu mu Makungula ag’eby’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 6/07 lup. 1

Tuli Basanyufu Okuweereza Yakuwa n’Obunyiikivu!

1 Omutume Pawulo yali musanyufu ‘okweweerayo ddala’ asobole okutuukiriza obuweereza bwe obw’Ekikristaayo. (2 Kol. 12:15) Mu ngeri y’emu leero, Abakristaayo bangi bakola nga bapayoniya abanyiikivu. Abalala abalina obuvunaanyizibwa bw’amaka obw’amaanyi, baffisaawo ebiseera ne basobola okwenyigira mu buweereza buli wiiki. Abamu abakaddiye oba abalina obulwadde obw’amaanyi bakozesa amaanyi gaabwe amatono okuwagira omulimu gw’Obwakabaka. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okulaba abantu ba Yakuwa ab’emyaka egitali gimu era abali mu mbeera ez’enjawulo nga baweereza Yakuwa n’obunyiikivu!

2 Okwagala Muliraanwa Waffe: Bwe tukola kyonna kye tusobola okuweereza Yakuwa era ne twoleka okwagala kwe tulina gy’ali n’eri muliraanwa waffe, tujja kuba n’omuntu ow’omunda omulungi. Olw’okuba Pawulo yeemalira mu kubuulira amawulire amalungi, yasobola okwogera n’essanyu nti: “Mbategeeza leero nti nze ndi mulongoofu olw’omusaayi gwa bonna.” (Bik. 20:24, 26; 1 Bas. 2:8) Bwe twenyigira mu buweereza n’obusobozi bwaffe bwonna, tujja kwewala okuvunaanibwa omusaayi gw’abantu.​—Ez. 3:18-21.

3 Tufuna essanyu bwe tufuba okuyamba abalala. (Bik. 20:35) Ow’oluganda omu yagamba bw’ati: “Kyo kituufu nti bwe nzirayo eka akawungeezi oluvannyuma lw’okumala olunaku lwonna mu buweereza bwa Yakuwa, mpulira nga nkooye. Naye mba musanyufu, era nneebaza Yakuwa olw’okumpa essanyu omuntu yenna ly’atasobola kunzigyako.”

4 Okwagala Katonda: Ensonga esinga obukulu etuleetera okwenyigira mu buweereza bwa Yakuwa kwe kuba nti kimusanyusa. Okwagala kwe tulina eri Katonda kutukubiriza okukwata ebiragiro bye, nga kino kizingiramu okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. (1 Yok. 5:3) Abantu ne bwe baba nga tebeefiirayo oba nga batuwakanya, tweyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu.

5 Kino si kiseera kya kuddirira. Tuli mu kiseera eky’amakungula. (Mat. 9:37) Omulimi akola essaawa nnyingi mu kiseera eky’amakungula kubanga aba n’obudde butono obw’okukunguliramu ebirime bye nga tebinnaba kwonooneka. Ekiseera kye tulina eky’amakungula ag’eby’omwoyo nakyo kitono nnyo. Nga tujjukira obukulu bw’ebiseera bye tulimu, ka ffenna tweyongere okwenyigira mu buweereza n’obunyiikivu.​—Luk. 13:24; 1 Kol. 7:29-31.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza