LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/07 lup. 7
  • Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 6/07 lup. 7

Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda

Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Jjuuni 25, 2007. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 30, ng’akwesigamya ku bye twayiga okuva nga Maayi 7 okutuuka mu wiiki etandika nga Jjuuni 25, 2007. [Weetegereze: Bwe watabaawo kitabo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okunoonyereza okusobola okufuna eky’okuddamu.​—Laba ekitabo Ssomero ly’Omulimu, lup. 36-7.]

ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU

1. Kiki kye tuyinza okukola okukkakkanya ebinywa byaffe, tusobole okwogera mu ddoboozi eddungi? [be-LU 184 kat. 3-185 kat. 2]

2. Tusobola tutya ‘okufuuka byonna eri abantu bonna’ nga tuli mu buweereza bwaffe? (1 Kol. 9:20-23) [be lup. 186 kat. 2-4]

3. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Yakuwa eky’okuwuliriza abalala? (Lub. 18:23-33; 1 Bassek. 22:19-22) [be lup. 187 kat. 1-2, 5]

4. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuyamba abalala okukulaakulana mu by’omwoyo? [be lup. 187 kat. 6–lup. 188 kat. 3]

5. Lwaki twandikitutte nga kikulu okussa ekitiibwa mu balala? [be lup. 190 kat. 3, kasanduuko]

EMBOOZI 1

6. Lwaki tuteekwa okufuba ennyo okutuuka ku mitima gy’abo be tuyigiriza? [be lup. 59 kat. 1]

7. Ekyokulabirako kye tussaawo kiyinza kukola ki ku abo be tuyigiriza? [be lup. 61 kat. 1]

8. Tuyinza tutya okulongoosa mu ngeri gye tunyumyamu nga tuli waka? [be lup. 62 kat. 3]

9. Nnabbi Yeremiya yatuteerawo kyakulabirako ki eky’obuvumu n’obunyiikivu? [bsi07 lup. 3 kat. 36]

10. Ekitabo ky’Okukungubaga kiwa bwesige ki, naye ate lwaki kya muganyulo mu kunnyonnyola engeri Katonda gy’ajja okubonerezaamu ababi? [bsi07 lup. 5 kat. 13]

OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI

11. Okusinziira ku ebyo ebyatuuka ku Yeremiya nga bwe kiragibwa mu Yeremiya 37:21, tuyinza kuba na bukakafu ki?

12. Nsonga ki eyinza okuba nga ye yaviirako Baluki okugamba nti Yakuwa yali ‘ayongedde obuyinike ku kulumwa kwe’ ne kimuleetera ‘okukoowa,’ era kiki Baluki kye yasooka okukola asobole okugonjoola ekizibu ekyo? (Yer. 45:1-5)

13. Babulooni kyakoma ddi okutuulwamu abantu era ne ‘kikiviirako okufuuka amatongo’? (Yer. 50:13)

14. Musingi ki ogukwata ku kusaba ogulagibwa obulungi mu kitabo ky’Okukungubaga 3:8, 9, 42-45?

15. Ekigaali ekyogerwako mu Ezeekyeri esuula 1 kikiikirira ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza