LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 5/07 lup. 3
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 5/07 lup. 3

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maayi: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’oddayo okukyalira abantu abaagala okumanya ebisingawo, nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo ku Kijjukizo oba mu lukuŋŋaana olulala lwonna naye nga tebatera kujja mu nkuŋŋaana, fuba okulaba nti obawa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, ng’olina ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli. Jjuuni: Is There a Creator Who Cares About You? oba Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka. Akatabo Okumanya nako kayinza okugabibwa. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino eziddirira ez’empapula-32 eyinza okugabibwa: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Beera Bulindaala!, “Look! I Am Making All Things New,” Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, The Government That Will Bring Paradise, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, What Is the Purpose of Life​—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies. Mu bitundu ebimu, brocuwa zino wammanga ziyinza okugabibwa: A Book for All People, A Satisfying Life​—How to Attain It, Our Problems​—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo gy’Abafu​—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo​—Olizudde?, ne Will There Ever Be a World Without War?

◼ Ceeke eziba ziweereddwayo okuwagira omulimu gw’ensi yonna, ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, era n’ezo eziweerezebwa ku ofiisi y’ettabi zirina okuweebwayo mu linnya lya “International Bible Students Association.”

◼ Obukiiko bw’abakadde busaanidde okwejjukanya ebbaluwa eya Jjulaayi 6, 2006, ekwata ku kwetegekera obutyabaga era n’okukakasa nti balina endagiriro ababuulizi ze bakozesa mu kiseera kino. Mu bitundu ebitera okugwamu obutyabaga, ababuulizi basaanidde okuwa abakadde endagiriro z’abo abayinza okutuukirirwa nga waguddewo obuzibu obw’amangu. Kya lwatu nti ng’oggyeko okwetegekera obutyabaga, kiba kirungi ababuulizi ne bategeeza omukadde akubiriza Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina oba omukadde omulala yenna, bwe baba nga tebajja kubaawo okumala ebbanga eriwerako. Ng’ekyokulabirako, kino bayinza okukikola bwe baba nga balina gye bagenda okuwummulirako oba okukola bizineesi, oba nga bajja kumala ekiseera ekiwanvuko mu ddwaliro.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza