Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Ddesemba 25, 2006. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 30, ng’akwesigamya ku bye twayiga okuva nga Noovemba 6 okutuuka mu wiiki etandika nga Ddesemba 25, 2006. [Weetegereze: Bwe watabaawo kitabo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okunoonyereza okusobola okufuna eky’okuddamu.—Laba ekitabo Ssomero ly’Omulimu, lup. 36-7.]
ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU
1. Kiki ekyandituyambye okumanya ebigambo ebituukirawo bye tusobola okukozesa okwanjula ebyawandiikibwa? [be-LU lup. 148 kat. 4–lup. 149 kat. 2]
2. Ngeri ki ezimu ze tuyinza okukozesa okuggumiza ebigambo ebiggyayo ensonga enkulu? [be-LU lup. 151 kat. 4–lup. 152 kat. 3]
3. Okuva bwe kiri ekikulu ennyo okuyigiriza abalala Ekigambo kya Katonda, kiki ekyetaagisa okusobola ‘okukozesa obulungi ekigambo eky’amazima’? (2 Tim. 2:15) [be-LU lup. 153 kat. 1-3, kasanduuko; lup. 154 kat. 1-2]
4. Tuyinza tutya okulaga engeri ekyawandiikibwa kye tusomye gye kikwataganamu n’ensonga gye twogerako? [be-LU lup. 154 kat. 4–lup. 155 kat. 3]
5. Lwaki kikulu nnyo okulaga omuganyulo gw’ebyo bye twogerako, era mu ngeri ki ezimu kino gye kiyinza okukolebwamu? [be-LU lup. 157 kat. 1-4, kasanduuko; lup. 158 kat. 1]
EMBOOZI 1
6. Mu ngeri ki Sulemaani gye yali omukuŋŋaanya? [bsi06-LU lup. 25 kat. 1-3]
7. Ekitabo ky’Omubuulizi kikwatagana kitya n’enjigiriza za Yesu? [bsi06-LU lup. 26 kat. 16]
8. Bukakafu ki obulaga nti ekitabo ky’Oluyimba lwa Sulemaani kituufu? [bsi06-LU lup. 28 kat. 3-4]
9. Emizingo egy’Omu Nnyanja Enfu egy’Ekitabo kya Isaaya gikakasa gitya nti Baibuli gye tulina leero erimu obubaka obwo bwennyini obwasooka? [bsi06-LU lup. 30 kat. 6]
10. Kiki ekiyinza okuyamba omwogezi obutawandiika bigambo bingi by’anaakozesa mu mboozi ye? [be-LU lup. 42 kat. 2]
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Mu ngeri ki gye kiri nti ‘abo abanoonya Yakuwa bategeera byonna’? (Nge. 28:5)
12. Mu ngeri ki gye kiri nti “okutegana kw’abasirusiru kubakooyesa”? (Mub. 10:15)
13. Mu ngeri ki omuwala Omusulamu gye yali ‘ng’olusuku olwasibibwa,’ era mu ngeri ki gy’ali ekyokulabirako ekirungi eri abakazi Abakristaayo abatali bafumbo? (Luk. 4:12)
14. Mu kuyita Abaisiraeri ‘okuteesa’ naye, Yakuwa yali alaga nti yali mwetegefu okutegeeragana n’abantu be, nga buli luuyi lubaako kye lwekkiriranya, basobole okukkaanya? (Is. 1:18a)
15. Isaaya 11:6-9 zaatuukirizibwa zitya mu biseera eby’edda, era zituukirizibwa zitya ku kigero esingawo?