LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 5/06 lup. 3
  • Ekyokulabirako eri Abakulu n’Abato

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ekyokulabirako eri Abakulu n’Abato
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Laba Ebirala
  • ‘Yatambula ne Katonda ow’Amazima’
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • Buli Muntu Asobola Okubaako ky’Ayiga Okuva mu Vidiyo Noah—He Walked With God
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Yatambulira Wamu ne Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 5/06 lup. 3

Ekyokulabirako eri Abakulu n’Abato

Yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. Obulamu bwe yabumalira mu kukola Yakuwa by’ayagala. ‘Yatambulira wamu ne Katonda,’ era ekyo kyamuleetera okufuna emikisa. Ayogerwako wano ye Nuuwa, eyateekawo ekyokulabirako ekisaanira okugobererwa abato n’abakulu. (Lub. 6:9) Vidiyo eyitibwa Noah​—He Walked With God ejja kukuyamba okukuba akafaananyi ak’obulamu Nuuwa bwe yalimu, ensonga lwaki Yakuwa yamuwa emikisa, era ekuyambe okulaba bw’oyinza okukoppamu engeri ze ennungi. Vidiyo gye zitali, mukubaganye ebirowoozo ku Olubereberye essuula 6 okutuuka ku 9. Kino kijja kubayamba okugoberera ekyokulabirako Nuuwa kye yateerawo Abakristaayo abaliwo mu kiseera kino eky’oluvannyuma.

Vidiyo ekwata ku Nuuwa eri ku DVD eriko ebibuuzo ebyo wammanga. Mukubirizibwa okugiraba oba bwe muba nga temugirina musome ebyawandiikibwa ebiggiddwa mu Olubereberye ssuula 6 okutuuka ku 9, n’oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: (1) Kikyamu ki bamalayika abamu kye baakola, era Abanefuli baali baani? (Lub. 6:1, 2, 4) (2) Lwaki abantu baafuuka babi nnyo, era Katonda yawulira atya? (Lub. 6:4-6) (3) Nuuwa yali wa njawulo mu ngeri ki? (Lub. 6:22) (4) Ababi baazikirizibwa batya? (Lub. 6:17) (5) Eryato lyali lyenkana wa obunene? (Lub. 6:15) (6) Mulimu ki omulala Nuuwa gwe yakola, era abantu baagutwala batya? (Mat. 24:38, 39; 2 Peet. 2:5) (7) Ku buli kika ky’ensolo, meka ezaali mu lyato? (Lub. 7:2, 3, 8, 9) (8) Enkuba yatonnyera bbanga ki, era ensi yamala bbanga ki ng’eri mu mataba? (Lub. 7:11, 12; 8:3, 4) (9) Lwaki Nuuwa n’ab’omu maka ge baawonawo? (Lub. 6:18, 22; 7:5) (10) Eryato lyatuula ku ki? (Lub. 8:4) (11) Nuuwa yategeera atya ekiseera ekituufu eky’okuva mu lyato? (Lub. 8:6-12) (12) Kiki Nuuwa kye yakola ng’avudde mu lyato? (Lub. 8:20-22) (13) Musoke kabonero ka ki? (Lub. 9:8-16) (14) ‘Okutambula ne Katonda’ kitegeeza ki? (Lub. 6:9, 22; 7:5) (15) Kiki kye twetaaga okukola okusobola okulaba Nuuwa mu Lusuku lwa Katonda? (Mat. 28:19, 20; 1 Peet. 2:21)

Ebikwata ku Nuuwa omusajja eyali omwesigwa era omuwulize bikuyigirizza ki ku ngeri gy’oyinza ‘okutambulamu ne Katonda’ n’okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kuwonyawo abantu be ab’omu kiseera kino?​—Lub. 7:1; Nge. 10:16; Beb. 11:7; 2 Peet. 2:9.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza