Ebirango
Maayi: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’oddayo okukyalira abantu abaagala okumanya ebisingawo, nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo ku Kijjukizo oba mu lukuŋŋaana olulala lwonna naye nga tebatera kujja mu nkuŋŋaana, laba nti obawa akatabo akapya Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Twandibadde n’ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli nga tukozesa akatabo ako. Jjuuni: Tujja kugaba ekitabo Learn From the Great Teacher. Abatalina baana, tusobola okubawa akatabo Okumanya. Fuba okufuna b’oyigiriza Baibuli. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino ez’empapula-32 eyinza okugabibwa: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, “Look! I Am Making All Things New,” Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, The Government That Will Bring Paradise, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, Katonda Atwetaagisa Ki?, ne When Someone You Love Dies. Mu bitundu ebimu brocuwa zino wammanga ziyinza okugabibwa: A Book for All People, A Satisfying Life—How to Attain It, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, ne Will There Ever Be a World Without War?
◼ Okuva omwezi gwa Jjulaayi bwe gulimu wiikendi ettaano, kyandibadde kirungi okuweereza nga payoniya omuwagizi.
◼ Oyo akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu omulala gw’aba alonze asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina nga Jjuuni 1 oba amangu ddala nga bwe kisoboka. Bwe kiba nti waliwo ssente ezaweebwayo okuddaabiriza oba okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, enteekateeka zirina okukolebwa okwekenneenya ebiwandiiko ebikwata ku ssente ezo. Nga kino kimaze okukolebwa, mutegeeze ekibiina lwe munaasoma lipoota y’eby’embalirira eddako.
◼ EKIRANGO EKY’ENJAWULO: Ceeke eziba ziweereddwayo okuwagira omulimu gw’ensi yonna, ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, era n’ezo eziweerezebwa ku ofiisi y’ettabi zirina okuweebwayo mu linnya lya “International Bible Students Association,” oba “Association of Jehovah’s Witnesses” mu Tanzania.
◼ Kyandibadde kirungi okuweereza ku ofiisi y’ettabi okusaba kw’abo abaagala okuweereza nga ba payoniya aba bulijjo ng’ebulayo ennaku 30 olunaku lwe baagala okutandikirako lutuuke. Omuwandiisi w’ekibiina asaanidde okwetegereza foomu okukakasa nti zijjuziddwa bulungi. Singa oyo aba asaba tasobola kujjukira lunaku lwe yabatizibwa, asobola okuluteebereza naye abeeko w’aluwandiika. Omuwandiisi alina okuwandiika olunaku luno ku kaadi eyitibwa Congregation’s Publisher Record (S-21)