LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 5/06 lup. 1
  • ‘Mungobererenga’

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • ‘Mungobererenga’
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Laba Ebirala
  • Obutaba Balamu Nate ku Bwaffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Koppa Yesu ng’Oweereza Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Oli Mwetegefu Kuwaayo Ki Okufuna Obulamu Obutaggwawo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • “Musooke Munoonye Obwakabaka”
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 5/06 lup. 1

‘Mungobererenga’

1 Abantu bangi beemalira nnyo mu kunoonya eby’amasanyu, naye era ne beesanga nga si basanyufu. Okwawukana ku ekyo, Yesu yatukubiriza okuba n’omwoyo ogw’okugaba kubanga ekyo kye kireeta essanyu erya nnamaddala. (Bik. 20:35) Yagamba bw’ati: “Omuntu bw’ayagala okungoberera yeefiirize yekka . . . angoberere.” (Mak. 8:34) Kino tekikoma ku kwerekereza by’amasanyu mirundi egimu. Kiba kitegeeza nti buli lunaku tulina kusanyusa Yakuwa so si kwesanyusa ffeka.​—Bar. 14:8; 15:3.

2 Lowooza ku kyokulabirako ky’omutume Pawulo. Olw’okuba yamanya nti ‘okutegeera Kristo Yesu kisinga ebirala byonna,’ yalekeraawo okwenoonyeza ebibye ku bubwe ne yeewaayo okukola omulimu gw’Obwakabaka. (Baf. 3:7, 8, NW) Ate era yagamba bw’ati: ‘Nze nja kuwaayo ebyange era nange nneeweereyo ddala’ okuweereza abalala. (2 Kol. 12:15, Baibuli ey’Oluganda eya 2003) Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti: ‘Nkozesa ntya ebiseera byange, amaanyi gange, obusobozi bwe nnina, era n’ebintu byange? Neemalidde ku kukola byange ku bwange, oba ku kusanyusa Yakuwa?’

3 Engeri y’Okugabamu: Buli mwaka, abantu ba Katonda bamala essaawa ezisukka mu kawumbi mu mulimu ogw’okubuulira Obwakabaka oguwonya obulamu. Mu bibiina, abakulu n’abato beenyigira mu mirimu egy’enjawulo egiganyula abalala. Ate era waliwo n’emirimu emirala mingi egikolebwa mu kuddukanya enkuŋŋaana ennene ne mu kuzimba oba okuddaabiriza ebizimbe ebikozesebwa mu kusinza okw’amazima. Okugatta ku ebyo, lowooza ne ku buyambi obutuweebwa ab’oluganda abaweereza ku Kakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro awamu n’Akabiina k’Abakadde Akakyalira Abalwadde. Okwefiiriza okw’engeri ng’eyo kuganyula nnyo ab’oluganda.​—Zab. 110:3.

4 Bwe wagwawo akatyabaga oba ekizibu ekyetaaga okukolebwako mu bwangu, tusobola okubaako n’obuyambi bwe tuwa nga bwe kiba kyetaagisa. Ng’oggyeko ekyo, emirundi egisinga obungi tuyinza okukitegeerako nti Mukristaayo munnaffe yeetaaga okuyambibwa oba okuzzibwamu amaanyi. (Nge. 17:17) Bwe tuba abeetegefu okuyamba abalala era ne tuwagira omulimu gw’Obwakabaka, tuba tugoberera ekyokulabirako kya Yesu. (Baf. 2:5-8) Ka tufube okukola bwe tutyo bulijjo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza