Engeri y’Okusigala nga Tuli Banyiikivu
1 Obunyiikivu Apolo bwe yayoleka mu buweereza bwe buyinza okutujjukiza Bakristaayo bannaffe leero abanyiikidde okubuulira. (Bik. 18:24-28) Naye, ffenna tukubirizibwa: ‘Obutaba bagayaavu.’ (Bar. 12:11) Kiki ekiyinza okutuyamba okunyiikirira obuweereza obw’Ekikristaayo?
2 Okumanya Kwongera ku Bunyiikivu: Yesu bwe yalabikira abayigirizwa be babiri, era “n’abannyonnyola ebimwogerwako mu Byawandiikibwa byonna,” baagamba: “Emitima gyaffe tegyatutyemuse bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo?” (Luk. 24:27, 32, NW) Mu ngeri y’emu, naffe tetubuguumirira bwe tweyongera okutegeera Ekigambo kya Katonda? Yee, okumanya kunyweza okukkiriza. Abaruumi 10:17 lugamba: “Okukkiriza kuva mu kuwulira.” Bwe tukkiririza mu bisuubizo bya Yakuwa, tuba tetusobola kulekera awo kwogera ku ebyo bye tuyize!—Zab. 145:7; Bik. 4:20.
3 Tetusobola kwesigama ku ebyo byokka bye twasoma edda okusobola okunywerera ku Katonda era n’okumuweereza n’obunyiikivu. Tulina okweyongera okutegeera amazima era n’okwagala Yakuwa. Bwe kitaba kityo, tujja kuba ng’abatuukiriza obutuukiriza oluwalo mu buweereza bwaffe. (Kub. 2:4) Ekigambo kya Katonda kitukubiriza ‘okweyongera okumanya Katonda.’—Bak. 1:9, 10, NW.
4 Engeri gye Twesomesaamu: N’olwekyo, tusaanidde okufaayo ku ngeri gye twesomesaamu. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuba nga tusazaako ku by’okuddamu ebituufu nga tutegeka Omunaala gw’Omukuumi era ne tubaako kye tuddamu mu nkuŋŋaana. Naye, tukebera ebyawandiikibwa ebitasimbuliziddwa bulambalamba era ne tufumiitiriza ku ngeri ebyo ebiri mu kitundu kye tutegeka gye bitukwatako? Bwe kituuka ku kusoma Baibuli okwa buli wiiki, tufuba okukola okunoonyereza embeera bwe ziba nga zitusobozesa era ne tufumiitiriza ku ebyo bye tuyigamu? (Zab. 77:11, 12; Nge. 2:1-5) Nga kya mugaso nnyo okufumiitiriza ku bye tusoma mu Kigambo kya Katonda! (1 Tim. 4:15, 16) Bwe tuneesomesa mu ngeri eyo tujja kukuuma emitima gyaffe era tujja kweyongera ‘okunyiikirira ebikolwa ebirungi.’—Tit. 2:14.