Kozesa Buli Kakisa k’Ofuna Okubuulira
1 Ekibiina Ekikristaayo kirimu abantu abali mu mbeera ez’enjawulo. Naye ate tuli bumu mu kutendereza Yakuwa. (Zab. 79:13) Singa obulwadde oba embeera endala enzibu gye tulimu etulemesa okwenyigira mu bujjuvu mu kubuulira amawulire amalungi, tuyinza tutya okukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira?
2 Mu bye Tukola Buli Lunaku: Yesu yakozesa buli kakisa okubuulira abantu be yasanganga buli lunaku. Bwe yali ng’ayita we basolooleza omusolo, yayogerako ne Matayo, olulala bwe yali ng’atambula yayogera ne Zaakayo, ate era lumu bwe yali ng’awumuddeko, yayogera n’omukazi Omusamaliya. (Mat. 9:9; Luk. 19:1-5; Yok. 4:6-10) Mu mbeera zaffe eza bulijjo, bwe tuba tunyumya n’abantu, tusobola okukozesa akakisa ako okuwa obujulirwa. Singa tubeera ne Baibuli, butulakiti oba brocuwa buli we tubeera, kiyinza okutukubiriza okuwa obujulirwa obukwata ku ssuubi lye tulina.—1 Peet. 3:15.
3 Olina obulwadde obukulemesa okugenda okubuulira nnyumba ku nnyumba? Ba mwetegefu okukozesa buli kakisa okubuulira abasawo n’abalala ababa baze okukulaba. (Bik. 28:30, 31) Embeera z’olimu bwe ziba nga tezikuganya kuva waka, wali ogezezzaako okubuulira ng’okozesa essimu oba ebbaluwa? Mwannyinaffe omu atera okuwandiikira ab’eŋŋanda ze abatali Bajulirwa. Mu bbaluwa ezo assaamu ebirowoozo ebizimba ebiva mu Baibuli era n’ebyokulabirako by’aba afunye ng’abuulira.
4 Ku Mulimu oba ku Ssomero: Olw’okuba twagala okutendereza Yakuwa, kijja kutukubiriza okukozesa buli kakisa ke tufuna okusiga ensigo ez’amazima nga tuli ku mirimu oba ku ssomero. Omubuulizi ow’emyaka omunaana yabuulirako bayizi banne ku ebyo bye yasoma mu Awake! ebikwata ku mwezi. Omusomesa bwe yategeera wa omubuulizi ono waggye ebyo bye yali abagambye, yatandika okutwala Watchtower ne Awake! ezaafulumanga. Bwe tubeera ku mirimu, ne tuteeka akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza abantu we basobola okukalabira obulungi, kiyinza okubaleetera okubuuza ebibuuzo ne kitusobozesa okuwa obujulirwa.
5 Oyinza okulowooza ku ngeri endala z’oyinza okukozesa okubuulira ng’oli mu mbeera zo eza bulijjo? Ffenna ka tufube okukozesa buli kakisa ke tufuna, ‘okuwa Katonda ssaddaaka ez’ettendo’ buli lunaku—Beb. 13:15.