Branch Letter
Ababuulizi b’ObwakabakaAbaagalwa:
Nga tutandika omwaka gw’obuweereza omuppya, circuit empya ssatu zaatandikibwawo mu Kenya, ssatu mu Tanzania, ate emu mu Burundi. Kati mu East Africa mulimu circuit 67 ne Disitulikiti 7.
Mu Tanzania, Ebizimbe by’Obwakabaka 237 bye byakazimbibwa okuva mu mwaka gwa 2000. Enteekateeka z’okuzimba ettabi zikolebwa era nga ku nkomerero y’omwaka guno kisuubirwa nti okuzimba kujja kutandika. Mu Burundi ne Uganda omulimu gw’okuzimba ofiisi z’amatabi guteeberezebwa okuggwa ku nkomerero y’omwaka guno. Okuva mu mwaka 1999, Ebizimbe by’Obwakabaka 276 bye byakazimbibwa mu Kenya ate nga mu Sudan waakazimbibwayo Ebizimbe 20.
Kati omulimu gw’okubunyisa amawulire amalungi gukolebwa ne mu bitundu omuli bakiggala. Bapayoniya ab’enjawulo abawerako abamanyi Olulimi lwa Bakiggala baweerezeddwa mu bitundu ebimu omuli bakiggala abangi.
Ate era tusiima nnyo baganda baffe ne bannyinnaffe abadduukiridde bakkiriza bannaabwe ababadde mu bwetaavu omwaka guno. Bbomu bwe zaatulikira mu kibuga Juba eky’omu Sudan, bangi baakola nnyo mu kuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka ekya Juba West era n’okuzimba ennyumba ya mwannyinaffe. Ate mu bitundu ebirala ebyalimu enjala n’amataba, baganda baffe baaweebwa obuyambi. Nga nkizo ya maanyi okubeera mu luganda olw’Ekikristaayo!—1 Peet. 2:17.
Musiimibwa nnyo olw’ebyo byonna bye mukola okutumbula omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Era musiimibwa olw’okuwagira omulimu guno mu by’ensimbi. (Nge. 3:9, 10) Ka Yakuwa yeeyongere okutuwa omukisa nga tufuba ‘okumuweereza olw’okumuweesa ekitiibwa.’—Bef. 1:12.
Ffe baganda bammwe,
Okuva ku Ofiisi y’Ettabi lya Burundi, Kenya, Tanzania, ne Uganda