LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/05 lup. 1
  • Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Laba Ebirala
  • Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Okuddiŋŋana Kuviirako Okufuna Abayizi ba Baibuli
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 7/05 lup. 1

Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana

Ekitundu 11: Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okuddayo eri Abaalaga Okusiima

1 Omuyizi wa Baibuli bw’atandika okubuulira, ajja kusanga abantu abaagala okuwuliriza amawulire amalungi. Tuyinza tutya okumuyamba n’asobola okuddayo eri abo abalaze okusiima n’okubayamba okukulaakulana?

2 Omulundi gwe tusooka okubuulira omuntu, gwe tulina okukolerako enteekateeka ez’okuddayo. Kubiriza omubuulizi omuppya okufaayo ku abo b’ayogera nabo. (Baf. 2:4) Mutendeke engeri gy’ayinza okumanyamu endowooza y’abo b’abuulira, okubawuliriza, n’okumanya ebintu ebibeeraliikiriza. Omuntu bw’aba alaze okusiima, gamba omubuulizi omuppya awandiike ebintu ebiyinza okumuyamba ng’azzeeyo. Kozesa by’awandiise okumuyamba okuteekateeka by’anaayogera nga muzzeeyo.

3 Nga Muteekateeka Okuddayo: Mwejjukanye bye yawandiika era omulage engeri gy’ayinza okulondamu ekintu ky’anaayogerako ekinaasikiriza nnyinimu. (1 Kol. 9:19-23) Muteeketeeke mwembi ennyanjula eri mu bufunze ng’erimu okusoma ekyawandiikibwa kimu n’akatundu kamu mu katabo ke mukozesa okuyiga. Ate era, mutegekeyo ekibuuzo kye munaaleka bwe munaaba nga mufundikira era nga kye mujja okuddamu nga muzzeeyo. Mulage engeri gy’ayinza okuyigirizaamu omuntu ekintu ekippya okuva mu Baibuli buli lw’aba azzeeyo okumukyalira.

4 Ate era kiba kirungi okuyigiriza omubuulizi omuppya ennyanjula ennyangu. Ng’amaze okubuuza nnyinimu, ayinza okugamba: “Nnannyumirwa nnyo lwe nnannyumya naawe ku mulundi guli era nkomyewo tweyongere okukubaganya ebirowoozo ku biri mu Baibuli [yogera omutwe].” Era oyinza okumuyigiriza ky’ayinza okwogera singa awaka asangawo muntu mulala.

5 Nnyiikira Okuddayo eri Abo Abaalaga Okusiima: Kubiriza omuyizi okussaawo ekyokulabirako ekirungi ng’addayo mangu eri abo bonna abaalaga okusiima. Okusobola okusanga abantu awaka kiyinza okwetaagisa okuddangayo enfunda n’enfunda. Muyigirize engeri gy’ayinza okukolamu enteekateeka okuddayo okukyalira omuntu era omuyambe okutegeera nti kikulu nnyo okuddayo nga bw’aba asuubizza. (Mat. 5:37) Muyigirize okuba ow’ekisa, okufaayo, era n’okuwa abalala ekitiibwa ng’anoonya abo abali ng’endiga era ng’abayamba okukulaakulana.​—Tito 3:2.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza