Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Jjuuni 27, 2005. Omulabirizi akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 30 nga kwesigamiziddwa ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Maayi 2 okutuuka nga Jjuuni 27, 2005. [Weetegereze: Bwe watabaawo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okukola okunoonyereza okukwo okusobola okufuna eky’okuddamu.—Laba ekitabo Ministry School, emp. 36-7.]
ENGERI ENNUNGI EZ’OKWOGERAMU
1. Lwaki kirungi okugeraageranya ebintu ng’oyigiriza? (Lub. 22:17; Zab. 1:3; Yak. 3:6) [be lup. 240 but. 2-4, kasanduuko] Okugeraageranya ng’okwo kusobozesa omuntu okukuba ekifaananyi ku biba byogerwa. Bwe kukozesebwa obulungi, kusobola okutuuka ku mitima gy’abatuwuliriza era ne kubayamba okujjukira bye tuba tubabuulidde okusinga bwe twogera obwogezi.
2. Ludda wa gye tusobola okuggya ebyokulabirako ebirungi, naye lwaki tulina okwegendereza? [be lup. 242 but. 1-2] Ekigambo kya Katonda kirimu ebyokulabirako bingi ebikwata ku bantu abaaliwo ddala. Ng’ekyokulabirako, Yesu yayogera ku “mukazi wa Lutti” ne ku “nnaku za Nuuwa.” (Luk. 17:32; Mat. 24:37-39) Bwe tweyongera okumanya ebiri mu Baibuli, tujja kufuna ebyokulabirako ebirungi ebikwata ku bantu n’ebintu ebyaliwo. Singa tusalawo okukozesa ebyokulabirako ebikwata ku bintu ebyakabaawo, tulina okukakasa nti bituufu, bituukiriza ekigendererwa kyaffe, era tetwanditaddemu bintu ebiyinza okuwugula ebirowoozo by’abatuwuliriza okuva ku nsonga enkulu eziri mu mboozi.
3. Kiki kye tulina okujjukira nga tulonda ebyokulabirako ebinaggyayo obulungi ensonga? [be lup. 244 but. 1-2] Ebyokulabirako birina okuba nga bikwata ku batuwuliriza. Kino kiba kitwetaagisa okusooka okutunuulira ebintu ebikolebwa mu kitundu gye tuli era n’obuwangwa bw’abantu abatuwuliriza. (Mak. 2:22; 4:2-9; Yok. 10:1-5)
4. Lwaki twandikozesezza ebintu ebirabwako nga tuyigiriza, era Yakuwa Katonda yabikozesa atya? [be lup. 247 but. 1-2, kasanduuko] Ebintu ebirabwako biyamba abawuliriza okussaayo omwoyo. Biyamba abantu okutegeera obulungi ensonga era n’okugijjukira okusinga okwogera obwogezi. Yakuwa yakozesa ebintu bingi ebirabwako gamba nga, emmunyeenye, ennyumba y’omubumbi, ekiryo, n’eweema. (Lub. 15:5; Yer. 18:1-6; Yon. 4:6-11; Beb. 9:9, 23, 24)
5. Tusobola tutya okukozesa ebintu ebirabwako nga tuli mu buweereza bw’ennimiro? [be lup. 248 kat. 1–lup. 249 kat. 2] Tusobola okweyambisa ebifaananyi, mmaapu, n’ebipande ebiri mu bitabo byaffe, era ne tusaba omuntu ayogere ku ky’alaba. (Am. 7:7, 8; 8:1, 2) Era tuyinza n’okukozesa vidiyo okuyigiriza amazima.
EMBOOZI 1
6. Bulagirizi ki obuli mu Kigambo kya Katonda obukwata ku kuyigiriza abaana? [w03 3/15 lup. 12 kat. 2; lup. 14 kat. 3] Yesu yali muyigirize, era ku myaka 12 gyokka, yasobola okwogera ebintu eby’amakulu n’abantu abakulu era abaali abayivu. (Luk. 2:42, 46, 47) Ate era kitaawe Yusufu alina omulimu gwe yamuyigiriza okukola. Abazadde baweereddwa obuvunaanyizibwa obw’okukuza abaana baabwe, nga ‘babakangavvula era nga babayigiriza okutegeera Yakuwa,’ awamu n’okubayamba ‘okwagala okumanya by’abeetaagisa.’ (Bef. 6:4; Nge. 12:1)
7. Dawudi bwe yali ng’akyali muvubuka, Yakuwa yalaga atya nti amwagala, ate era ne Dawudi yalaga atya nti ayagala Yakuwa? [w03 4/15 lup. 29 kat. 4; lup. 30 kat. 3] Yakuwa yalonda Dawudi, mutabani wa Yese eyali asembayo obuto okuba kabaka wa Isiraeri ow’omu biseera eby’omu maaso, kubanga yali amulabye ng’ajja kusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. (1 Sam. 16:7) Ate era Dawudi yafaangayo nnyo okukuuma enkolagana ye ne Yakuwa era yamusabanga amuwe obulagirizi. (Zab. 25: 4, 5)
8. Lwaki Yakuwa yasiima ssaddaaka ya Abeeri, era ekyo kitukakasa ki? (Lub. 4:4) [w03 5/1 lup. 28 kat. 4–lup. 29 kat. 1] Wadde nga ssaddaaka ya Abeeri eyinza okutwalibwa ng’ekintu ekyali ekitono, yagiggya mu bisolo bye ebyali bisingayo obulungi. Yakiikirira ekintu ekisingayo obulungi kye yali alina okuwaayo. Abeeri ateekwa okuba nga yalowooza nnyo ku ssaddaaka gye yali agenda okuwaayo, okuva bwe yali eyoleka okukkiriza kwe yalina. (Beb. 11:4) Kino kitukakasa nti Yakuwa asiima ‘ssaddaaka zaffe ez’okumutendereza’ singa tuzziwaayo mu kukkiriza n’omutima ogujjudde okwagala. (Beb. 13:15)
9. ‘Okubuulirira kwa Yakuwa’ Engero 3:11 kwe lutukubiriza obutanyooma, kwe kuluwa? [w03 10/1 lup. 20 but. 2-4] Ebigambo bino tebitegeeza kubuulirira kw’abantu, naye okwo okwesigamiziddwa ku misingi gya Katonda egya waggulu. Okubuulirira ng’okwo kuzingiramu ebintu bingi gamba nga, obulagirizi, okutendeka, okukangavvula, okutereeza n’okubonereza. Tekulina kunyoomebwa, okuva bwe kwesigamiziddwa ku kwagala era nga n’ekigendererwa kyakwo kya kutuyigiriza, kututereeza, n’okutuganyula. (Beb. 12:11)
10. Makulu ki agali mu kigambo “obutayaayaananga” ekiri mu 1 Timoseewo 6:6-8? [w03 6/1 lup. 9 but. 1-2; lup. 10 kat. 1] Kitegeeza okubeera abamativu n’ebintu bye twetaaga, ka tube nga tuli mu mbeera ki, nga twesiga Yakuwa era nga tumuweereza. Obutayaayaanira bintu kituleetera okufuna obumativu obuva mu kukulembeza obuweereza bwaffe eri Katonda ka tube nga tulina ebintu bitono oba bingi.
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Okwagala okwaliwo wakati wa Yonasaani ne Dawudi kwali kusonga ku ki? (2 Sam. 1:26) [w89 1/1 lup. 26 kat. 13] Okwagala okw’amaanyi okwaliwo wakati wa Yonasaani ne Dawudi kwali kusonga ku bumu obuliwo wakati wa ‘ab’endiga endala’ n’ensigalira y’abaafukibwako amafuta nga bali mu ‘kisibo kimu’ wansi ‘w’omusumba omu,’ Yesu. (Yok. 10:16)
12. Kiki kye tuyinza okuyigira ku mulundi Dawudi lwe yasooka okugezaako okuleeta esanduuko y’endagaano mu Yerusaalemi? (2 Sam. 6:2-9) (1) Okubuusa amaaso obulagirizi bwa Katonda kivaamu emitawaana. (2) N’abo abalina enkolagana ennungi ne Yakuwa, emirundi egimu bayinza okweyisa mu ngeri etali ya magezi singa wabeerawo embeera enzibu. (3) Buli kiseera tulina okukwasa Yakuwa ebizibu byaffe era tetulina kumunenya olw’ebizibu bye tuyinza okufuna nga tubuusizza amaaso obulagirizi bw’atuwa. [2, w05 5/15 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu—Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri eky’Okubiri”; w96-E 4/1 lup. 28 kat. 5–lup. 29 kat. 1]
13. Oluvannyuma nga Dawudi ne Basuseba bamaze okwonoona, lwaki omwana waabwe yalina okufa, ate nga Ekyamateeka 24:16 ne Ezeekyeri 18:20 zigamba nti omwana talina kufa lwa kibi kya kitaawe? (2 Sam. 12:14; 22:31) Singa abantu be baasala omusango ogwo, abazadde awamu n’omwana eyali tannazaalibwa, bandibadde battibwa. (Ma. 22:22) Okufa kw’omwana kuyinza okuba nga kwayamba Dawudi okutegeera nti Yakuwa yali amunyiigidde nnyo olw’ekibi kye yakola. Ate era, ebyali bikwata ku bulamu bw’omwana oyo eyali yakazaalibwa tetubimanyi. Naye tusobola okuba abakakafu nti ensonga eyo Yakuwa yagikwata mu ngeri ey’obwenkanya. [3, w05 5/15 “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi”; w86 3/15 lup. 31]
14. Tumanya tutya nti Ziba bye yayogera ku Mefibosesi byali bya bulimba? (2 Sam. 16:1-4) Kyali tekiyinzika omusajja omuwombeefu nga Mefibosesi eyali ayoleka okusiima, okwegwanyiza obukulu. Awatali kubuusabuusa, yali amanyi bulungi obwesigwa bwa kitaawe Yonasaani. Wadde nga Yonasaani yali mwana wa Kabaka Sawulo, mu buwombeefu, yali akimanyi nti Yakuwa alonze Dawudi okubeera kabaka wa Isiraeri. (1 Sam. 20:12-17) Olw’okuba yali mukwano gwa Dawudi omwesigwa, Yonasaani yali tasobola kukubiriza mutabani we kwegwanyiza kubeera kabaka. [5, w02 2/15 lup. 15.]
15. Lwaki ekyo Mefibosesi kye yakola mu mbeera eyaliwo wakati we ne Ziba kyakulabirako kirungi gye tuli? (2 Sam. 19:24-30) Bwe kyamanyibwa nti Ziba yali awaayiriza Mefibosesi, Dawudi ensonga eyo teyagigonjoolera ddala nga bwe kyali kyetaagisa. Kyokka Mefibosesi teyawakanya ekyo Dawudi kye yali asazeewo. Ebirowoozo bye yabiteeka ku kintu ekyali kisingayo obukulu, era n’asanyuka olw’okuba kabaka wa Isiraeri omutuufu yali akomyewo mirembe. Mazima ddala, Mefibosesi yateekawo ekyokulabirako ekirungi ng’agumiikiriza obulema bwe yalina, okuwaayirizibwa era n’okumalibwamu amaanyi. [6, w02 2/15 lup. 15 kat. 12]