Enteekateeka y’Amaka—Enkuŋŋaana z’Ekibiina
1 Ng’omuzadde Omukristaayo, awatali kubuusabuusa oyagala abaana bo baagale Yakuwa, bamuweereze, era bafune obulamu obutaggwaawo mu nsi empya Katonda gye yasuubiza. Oyinza otya okubayamba okukulembeza okusinza Yakuwa mu bulamu bwabwe? Ekisinga obukulu kwe kubateerawo ekyokulabirako ekirungi. (Nge. 20:7) Ng’ajjukira ekyokulabirako kya maama we omujulirwa, mwannyinaffe omu yagamba nti: “Tewaabangawo kubuusabuusa kwonna obanga tunaagenda mu lukuŋŋaana.” Kino kyamukwatako nnyo.
2 Ab’omu maka go bategeera bulungi ekigendererwa ky’enkuŋŋaana? Okuyigirizibwa kwe tufuna mu nkuŋŋaana zino kutukubiriza okweyongera okukola Katonda by’ayagala, ate era, tuzibwamu nnyo amaanyi bwe tukuŋŋaana ne baganda baffe. (Is. 54:13; Bar. 1:11, 12;) Kyokka, ekigendererwa ekikulu eky’enkuŋŋaana zaffe kwe kutendereza Yakuwa nga ‘tuli mu bibiina.’ (Zab. 26:12) Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo zitusobozesa okwoleka okwagala kwe tulina eri Yakuwa era n’okumusinza.
3 ‘Mwegendereze’: Bwe tutegeera ekigendererwa ekikulu ennyo eky’enkuŋŋaana zaffe, kijja kutukubiriza ‘okwegendereza’ tuleme kufuna muze gwa kwosa nkuŋŋaana nga twekwasa obusonga songa obutaliimu. (Bef. 5:15, 16; Beb. 10:24) Bw’oba okola enteekateeka y’amaka go, oyinza okutandikira ku biseera eby’okugenda mu nkuŋŋaana. Era fuba okulaba nti tewaliwo kintu kiyingirira nteekateeka eyo. Kakasa nti enkuŋŋaana zitwalibwa ng’ekintu ekikulu mu maka go.
4 Tetukwatibwako nnyo bwe tusoma ku baganda baffe abafuba okuvvuunuka emisanvu gyonna egiyinza okubalemesa okubaawo mu nkuŋŋaana entono n’ennene? Wadde ng’embeera z’olimu ziyinza obutaba nzibu nnyo, awatali kubuusabuusa, waliwo ebizibu by’oyolekagana nabyo. Setaani afuba nnyo okulaba nti abantu balekera awo okusinza Yakuwa. Wadde kiri kityo, beera mukakafu nti abaana bo bajja kulaba nti mwenna ng’amaka muli bamalirivu okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Mazima ddala, bw’ofuba okujja mu nkuŋŋaana n’abaana bo, oyinza okubawa ekirabo eky’eby’omwoyo kye batayinza kwerabira.