Olunaku lwa Yakuwa Luli Kumpi
1 Abakristaayo beesunga nnyo olunaku Yakuwa lw’ajja okuzikiririzaako enteekateeka y’ebintu eno, azzeewo ensi empya ey’obutuukirivu. (2 Peet. 3:12, 13) Okuva bwe tutamanyi kiseera kyennyini we lunajjira, twandibadde bulindaala era ne tuyamba n’abalala okuba obulindaala. (Ez. 33:7-9; Mat. 24:42-44) Bwe tufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda eky’obunnabbi, kijja kutuyamba okwongera okuba abakakafu nti ‘olunaku lwa Yakuwa olukulu luli kumpi.’—Zef. 1:14.
2 Obufuzi Kirimaanyi Obugenda Buddiriŋŋana: Nga bwe kiragibwa mu Okubikkulirwa 17:9-11, omutume Yokaana ayogera ku “bakabaka omusanvu,” abakiikirira obufuzi omusanvu kirimaanyi obugenda buddiriŋŋana. Era Yokaana ayogera ku ‘kabaka ow’omunaana,’ akiikirira Ekibiina ky’Amawanga Amagatte. Waliwo obufuzi obulala kirimaanyi bwe tusuubirayo? Nedda, obunnabbi bulaga nti kabaka ono ow’omunaana ‘agenda kuzikirizibwa’ era tewali bufuzi bulala buddamu kwogerwako. Obunnabbi buno tebukuyamba okutegeera ekiseera kye tulimu?
3 Danyeri 2:31-45 watuyamba okutegeera olunaku lwa Yakuwa olugenda okujja. Mu bunnabbi obwo, ekifaananyi ekinene Nebukadduneeza ky’alaba mu kirooto kikiikirira obufuzi kirimaanyi obugenda buddiriŋŋana. Obufuzi buno bwonna bumaze okubaawo. Kati bufuzi ki obufuga leero? Tuli mu kiseera eky’obufuzi obukiikirirwa ebigere by’ekibumbe. Obunnabbi bulaga ekinaddirira. Obufuzi bw’abantu bujja kusaanyizibwawo, waddewo “obwakabaka obutalizikirizibwa emirembe gyonna.” Olaba engeri kino gye kiraga nti olunaku lwa Yakuwa luli kumpi?
4 Obukakafu Obulala: Naffe tulaba obukakafu obulala obulaga nti olunaku lwa Yakuwa luli kumpi. Tulaba okutuukirizibwa kw’ebigambo bya Pawulo ebikwata ku ngeri abantu gye bandyeyisizzaamu “mu nnaku ez’oluvannyuma.” (2 Tim. 3:1-5) Era twenyigira mu mulimu gw’okubuulira mu nsi yonna, ogulina okukolebwa ng’enkomerero tennatuuka. (Mat. 24:14) Obuweereza bwaffe ka bweyongere okulaga obukulu bw’ebigambo bya malayika agamba nti: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse.”—Kub. 14:6, 7