Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Mak. 15
“Abantu okwetooloola ensi batendereza nnyo enjigiriza za Yesu. [Soma ebyo ebiri ku lupapula 3, akatundu 1.] Naye olowooza enjigiriza ezo, gamba ng’eno eri mu kyawandiikibwa kino, ziyinza okutuyamba leero? [Soma Matayo 5:21, 22a. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga enjigiriza za Yesu n’engeri gye ziyinza okutuganyula.”
Awake! Mak. 22
“Abantu bangi baagala nnyo ensozi olw’endabika yaazo ennungi, naye obadde okimanyi nti za mugaso eri obulamu ku nsi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola ensonga lwaki twetaaga ensozi era n’ekyo ekizituukako leero. Ate era, eraga engeri Omutonzi gyanaakomyamu okwonoonebwa kwazo.” Soma Zabbuli 95:4
The Watchtower Apul. 1
“Wali owuliddeko abagamba nti sayansi ne Baibuli bikontana? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eyogera ku bukuubagano obubaddewo mu byafaayo wakati wa sayansi n’eddiini. Ate era, ewa obukakafu obulaga nti sayansi omutuufu akkiriziganya ne Baibuli.” Mulage ebiri ku mpapula 6-7. Oluvannyuma soma Omubuulizi 1:7.
Awake! Apul. 8
“Olowooza abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okwewala ebizibu bye boolekagana nabyo mu myaka egy’obutiini? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Isaaya 48:17, 18.] Magazini eno eraga engeri okugoberera amagezi agali mu Baibuli gye kiyinza okuyamba abazadde okussaawo empuliziganya ennungi n’abaana baabwe era n’okubakugira ekisaanidde.”